TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Poliisi bamusaze ng'embuzi ne batwala emmundu

Owa Poliisi bamusaze ng'embuzi ne batwala emmundu

Added 18th September 2017

Owa Poliisi bamusaze ng'embuzi ne batwala emmundu

 Kasozi eyatemeddwa

Kasozi eyatemeddwa

ABAZIGU abeebijambiya balumbye poliisi ne batema omuserikale ne batwala emmundu. PC Vincent Kasozi akolera ku poliisi y’e Mponye - Lukuli yalumbiddwa mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga bwe yabadde ali ku poliisi ng'akuuma.

Ku poliisi yabaddewo ne munne Dickens Alado. Okusinziira ku Alado, abasajja bataano bazze ku poliisi nga beefudde abaagala okuggulawo omusango.

Yagambye nti, Kasozi ye yabadde avunaanyizibwa ku kitabo yagenze okubakolako wabula amangu ddala nga yaakabikkula ekitabo, omu ku basajja yasiseeyo ejjambiya.

Kasozi yagambye nti, bwe yalabye ng’omusajja asikayo ejjambiya kwe kwanguwa aggyeyo emmundu ye wabula n'amusinza obwangu n'amutema ku nsingo. Yagasseeko nti, olwamaze okumutema mu bwangu ne bamuggyako emmundu ne badduka.

Alado yagambye nti, yawulidde munne ng’akuba omulanga kwe kujja alabe ogubadde, yagenze okutuuka n’alaba abasajja abadduka ate nga munne ali mu musaayi. Yagezezzaako okubawereekereza amasasi kyokka teyasobodde kubakwasa.

Amyuka omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yategeezezza nti, obulumbaganyi buno bwabaddewo ku ssaawa 7:00 ez’ekiro. Yagaseeko nti, oluvannyuma lw’obulumbaganyi, DPC w’e Kabalagala atwala Lukuli yatuuse mu kitundu n’embwa ezikonga olusu era ne zisibira ku kikomera ekimu mwe baasanze abasajja bana okuli Timothy Lutalo, Moses Nyeko, Meddie Bale ne Alex Kamugisha ne babakwata.

OWA UPDF BAMUBBYEEKO EMMUNDU

Ku Lwomukaaga ku makya, poliisi y’e Kawempe yazudde emmundu ekika kya pisito eyabbiddwa ku wa UPDF. Omumyuka w’omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire, agamba nti emmundu eno baagironze ku kkubo okuliraana Taibah High School. Yagaseeko nti, omujaasi eyabbiddwaako emmundu, yabadde yagguddewo omusango ku poliisi ya Kira Road era yamuddiziddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....