TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Luwalira atenderezza maama w'omulamuzi Kavuma

Bp. Luwalira atenderezza maama w'omulamuzi Kavuma

Added 19th September 2017

Steven Kavuma yayogedde ku nnyina ng’abadde akulembeza Katonda, omukulembeze omulungi, omuzira era omugunjuzi.

 Omulamuzi Kavuma ( mu ttaayi) ng’alaba abasima entaana ya nnyina. (Mu katono ye mugenzi Nanozi)

Omulamuzi Kavuma ( mu ttaayi) ng’alaba abasima entaana ya nnyina. (Mu katono ye mugenzi Nanozi)

Bya PONSIANO NSIMBI SHAMIM NABUNYA

OMULABIRIZI w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira atenderezza Margaret Nannozi Ddungu, maama w’omumyuka wa Ssaabalamuzi Steven Kavuma olw’obukulembeze obulumirirwa abantu bw’abadde nabwo.

Yabadde mu Lutikko e Namirembe mu kusaba n’agamba nti abadde mukulembeze omulungi, afaayo ate omuyonjo mu mutima n’ebikolwa.

Nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa eyakiikiridde Pulezidenti yagambye nti maama wa Kavuma agwanidde okukungubagirwa mu kitiibwa kuba emirimu gy’akoledde eggwanga lye n’ekkanisa girabwako omuli n’okugunjula Kavuma n’avaamu omuntu ow’omugaso.

Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa ng’akwasa Kavuma amabugo agaamuweereddwa Pulezidenti ga bukadde 10.

 

Nankabirwa yakwasizza Kavuma amabugo ga Pulezidenti ga bukadde 10 n’akakadde kamu okuva ku ofiisi ye. Ssaabalamuzi Bart Katureebe yayogedde ku mugenzi ng’abadde omukyala eyeebuuzibwako mu ggwanga era omugunjuzi.

Steven Kavuma yayogedde ku nnyina ng’abadde akulembeza Katonda, omukulembeze omulungi, omuzira era omugunjuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.