TOP

Lwaki Makolo ne Mutyaba babakutte

Added 20th September 2017

Poliisi yasoose kukwata Makolo Kavuma ne bamukozesa okukubira Mutyaba essimu ayanguwe mangu nga bwe waliwo ddiiru.

Mutyaba (mu mujoozi) ne Makolo Kavuma (ku kazindaalo).

Mutyaba (mu mujoozi) ne Makolo Kavuma (ku kazindaalo).

Bya Joseph Makumbi, Kizito Musoke, Vivien Nakitende, Joseph Mutebi, Peter Ssaava ne Abu Batuusa

POLIISI okukwata abakubi b’amasimu ku leediyo-Makolo Kavuma ne Isaac Mutyaba yasoose kubalondoola nga boogera ku leediyo emu ku Lwomukaaga.

Okukkakkana nga baggaliddwa mu kaduukulu Nalufenya erimu ku makomera agasinga okuba ag’omutawaana mu Uganda.

Wadde bassiddwaako musango gwa kukuma muliro mu bantu, kyokka mukama waabwe akulira abakubi b’amasimu ku leediyo Moses Kaggwa agamba nti ekyo tekyandibatwazizza Nalufenya, waliwo ensonga endala.

Abakuba amasimu beegattira mu kibiina kya Radio Phone Callers’ Association.

Yagambye nti akimanyiiko nga waliwo abanene mu Gavumenti be babadde baggyako ssente kyokka ne batakola mulimu.

Alumiriza nti bano be baataddemu amaanyi okukwata Kavuma ne Mutyaba. Baakwatiddwa ku Mmande nga busaasaana.

Poliisi yasoose kukwata Makolo Kavuma ne bamukozesa okukubira Mutyaba essimu ayanguwe mangu nga bwe waliwo ddiiru.

Bwe yatuuse ku City Oil ewa Bakuli yamusanze n’abasajja basatu ne bamukwata.

Baabatutte ku CPS we baabaggye okubongerayo e Nalufenya.

Kyokka Mutyaba baamuggyeeyo ng’ali mu mbeera mbi n’akomezebwawo ku CPS.

Amaka ga Isaac Mutyaba e Nsumbi - Kyebando.

 

Muka Kavuma attottola

Saida Kavuma, muka Makolo Kavuma eyasangiddwa mu maka gaabwe e Masajja, yategeezezza nti bba yafunye essimu ku ssaawa 10:00 nga bukya n’agyogererako kyokka ye Saida teyawulidde bye boogera.

Bwe zaaweze 11:00, n’afuluma n’agenda. Okuddayo okumuwuliza nga ziweze ssaawa 3:00 ez’oku makya n’amutegeeza nti ali ku CPS.

Mutyaba akwatibwa

Abaana ba Mutyaba okuli Aisha Mutyaba, Arafat ne Ali Mutyaba abaasangiddwa ewa Mutyaba e Kyebando- Nsumbi, Nansana bannyonnyodde nti kitaabwe bwe yafunye essimu yasitukiddemu n’agenda.

Aisha Mutyaba yagambye nti, bwe yabadde agenda yamutegeezezza nti akomawo mangu atwale abaana abato ku ssomero.

“Twalinze ddadi nga takomawo. Waliwo eyatukubidde essimu ng’atutegeeza nti atwaliddwa Nalufenya.”

Makolo Kavuma ne Mutyaba bakoze erinnya mu kukuba essimu ku leediyo ne bateesa kumpi ku buli kintu.

Bakozesa leediyo okulwanyisa bye batawagira. Mu mbeera eyo, abantu bangi babeesiga era ne babeeyambisa okuwagira ensonga ezimu oba okuzirwanyisa.

Mu byobufuzi, batera okwewunzikira ku ludda lw’abavuganya Gavumenti. Ate aba NRM bwe babaako kye baagala okuggusa bakolagana n’abakubi b’amasimu ne bakuba ku leediyo okuwagira ensonga oba okusaba abakubi b’amasimu aboolulango ne batabaako kye boogera ku nsonga ezo.

Mutyaba annyonnyodde Bukedde yamusanze ku CPS ng’awulubadde n’agamba “baaba abasajja baatukubye emiggo.”

Bwabadde busasaana ku Mmande, Makolo n’ankubira essimu nnyanguwe mmusange ku City Oil ewa Bakuli. Namusanze n’abasajja basatu mu ngoye ezaabulijjo kyokka nga balina emmundu. Wano we bankwatidde.

Bannumirizza bwe nkuma mu bantu omuliro nga nsinziira ku pulogulaamu gye nabaddeko ku Bukedde Fa-Ma ku Lwomukaaga nga mpakanya okukyusa Ssemateeka okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Kino baakiyise kukuma mu bantu muliro kwekalakaasa. Baatututte butereevu ku CPS.

Babatwala e Nalufenya

Mutyaba yagambye nti ku ssaawa 6:00 mu ttumbi ku Mmande, baabakyusizza ne babatwala e Nalufenya.

Kavuma yabadde awalira ne bamusamba. Ye Mutyaba, agamba nti yabadde mulwadde, bwe baamukubye ne balaba ng’ayongobedde ne bamuzzaayo ku CPS.

Kyokka eby’okubakuba, Bukedde teyasobodde kufuna ludda lwa poliisi ku nsonga eyo.

Abaana ba Mutyaba.

 

Babawa ssente ne batakola?

Kigambibwa nti waliwo abanene abaanyiize oluvannyuma lw’okuwa ssente Makolo ne Mutyaba, kyokka ate bwe baagenze ku leediyo ne batawagira nsonga zaabatumiddwa.

Kigambibwa nti abanene bano baabayise ku emu ku woteeri mu Kampala, we baabakwatidde.

Kyokka Mutyaba yagambye nti, ebyo byabulimba baabakwatidde ku City Oil ewa Bakuli.

Yagasseeko nti emisango gye babavunaana tekuli n’ogumu gwa kubawa ssente, babavunaana kukunga bantu kwekalakaasa, n’ogw’obutujju.

Yabadde ali ku Bukedde ku Lwomukaaga nga Makolo ali ku Top Radio.

Babadde bafera abanene mu NRM

Kaggwa yakitadde ku Makolo ne Mutyaba nti babadde bafera abanene mu NRM ne babaggyako ssente nga babagamba nti za kibiina ky’aboogezi b’oku leediyo wabula ssente nga tezituuka mu kibiina.

“Tumaze ebbanga nga tuwulira nti Makolo ne Mutyaba baweebwa ssente boogerere bulungi ensonga y’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.  Ssente babadde bazirya ate nga tebakola mulimu gubasasuza.

Kyokka bino Mutyaba abiwakanya. Kaggwa eby’okulya ssente abiggya ku byabaddewo ku Mmande emisana.

Yagambye: Nabadde ne Luba Kyoya (naye akuba amasimu ku leediyo) ne wabaawo eyakubidde Luba Kyoya essimu. Luba Kyoya yatumbudde essimu ne mpulira eddoboozi nti “Ggwe osimattuse naye banno tubakutte. Bwe mutaakomye bufere nga mulya mu lulime ne mu luzise gwe oddako”.

Kyokka omusajja teyeeyanjudde.

 

EBISOKO BYE BASSA MU KUKUBA AMASIMU

Hallo!!! Bukedde Fa-Ma Embuutikizi, simanyi njogera ne Ronald Sebutiko oba ndi ne Moses Walugembe? Nze Makolo Kavuma mu kibuga ekikulemberwa Omuloodi, Nsereko y’ankiikirira naye nga ndi mu ‘struggle’ y’emu ne Col. Kiiza Besigye mpozzi ne David Kalwanga Ssuubi lya Busujju akutumidde omanyi aweweera engalo oyo.

Oluba okuvaako ate ng’essimu endala eyitamu nti; “Nze taata Jonah, omwogezi wa Onalebo Nabilah era omuwagizi wa Onalebo Muyanja Senyonga ow’e Mukono wadde ndudde okumuwuliza muhngambire ankubireko. Mpozzi era ndi mwogezi wa Hajji Kitatta Boda Boda 2010 owa NRM eyaguze ambyulensi era ntambula kimu ne Dr. Besigye tusobole okuggyako Museveni.

Oba okyali awo ng’endala “Saalongo Settumba, omuwagizi wa maama Nankulu Jennifer Musisi mu kibuga Kampala…”

Amasimu gano gagenda gagoberagana, wadde ng’abalala bali mu kulaajana olw’okunyiga essimu nga teziyitamu!

“Nze Wasswa Bukenya, omwogezi wa Onalebo Wakayima Musoke ow’e Nansana Municipality. Nsula mu Konsitityuwensi ya Onalebo Luttamaguzi Semakula e Nakaseke alwaniridde ettaka...”

Mu kiseera kino, eyakubye essimu agiremerako n’olowooza nti banaatera okugikwata, kyokka bagenda okukwata ng’owulira: “Nze Ssaalongo Robert Muvakooki owa NRM enkadde”.

“Nze Luba Kyoya siwagira Kyapa-Mungalo, Tamale Mirundi yatugamba kibi nnyo. Ndi ku kiwayi kya takisi ekikulemberwa Yasin Ssematimba oyo Musitafa Mayambala mulalu...”

“Edward Kirumira e Kyesiiga Omusoyiro naye simanyi oba eggwanga bw’obiraba we mbiraba...”

“Nze major Umar omuvuzi wa sipensulo, ndi muwagizi wa maama Joyce Sebuggwawo ow’e Lubaga ne Loodi meeya ne meeya Mulyanyama ssaaka meeya Balimwezo ow’e Nakawa naye nga ndi musajja wa NRM nnyo...”

Kyokka waliwo n’abakubi b’amasimu abaali ab’olulango abaasirika.

Bano kuliko ne Isma Lubega e Kibibi eyali akulukusa amaziga ng’akubye essimu.

Abalala abaamannya abakuba amasimu kuliko; Hamis Kazibwe e Lukaya, Muko Ssuuna omuwagizi wa FDC atakyukakyuka, Buulu Mulaalo, mobilayiza wa NRM e Kyazanga, Jimmy Seremba, Bulhan Katwere, Denis Sebuufu, Faisal Kameraman, Hussein Kawooya ne Sheikh Mugenyasooka.

Abalala kuliko; Sendawula Musaayi gwa D.P, Muzeeyi Mpologoma, Kato Kaweesa, Mzee Moses owe Muyenga, Ssaalongo Settumba, Kibojjerakulwazi, Mzee Tomusange, Augustine Kawuki, Richard Kato, Godfrey Segayiira, Robert Senyondo n’abalala.

ANI ABASASULA?

Abantu bangi beebuuza asasula abakubi b’amasimu ab’olulango ku leediyo, anti bakuba mu buli pulogulaamu ya byabufuzi ate nga si ku leediyo emu.

Ekimu ku kyewuunyisa, kwe kubeera nti wadde bakuba nga bakukkuluma embeera nga bw’eri embi, kyokka basaasaanya ssente nnyingi nga bakuba amasimu!

Wandirowoozezza nti ssinga bakendeeza ku ssente enkumu ze bateekamu, bandibadde wala.

Omuntu abasasula mwangu waakuzuula naddala ssinga weegendereza ensabika y’ebigambo nga boogera.

Kizibu okumalako essimu nga talina linnya lya munnabyabufuzi oba omukulembeze gw’ayogeddeko era bano olweggulo be babavujjirira omusimbi.

Ggwe olaba muntu kwekwata munnabyabufuzi, awuliriza n’olowooza nti amulumirirwa nnyo kumbe waliwo ekyekwese.

Eno y’ensonga lwaki tekibagaana kuwagira bannabyafuzi be bamanyidde ddala nti bo tebakwatagana. Asobola okuwagira ow’oludda oluvuganya n’agattako aba NRM.

Olw’okuba bangi babeera ku musaala, tekimugaana kwefuula mwogezi wa mubaka, wadde nga si y’amukiikirira!

Ow’e Kampala tekimugaana kufuuka mwogezi wa mubaka w’e Rakai, gy’atalinnyangako.

Bannabyabufuzi oba abakulembeze abali ku mbiranye bamanyi okwekwata abantu bano ne babalwanirira.

Omuntu ayinza okuggulawo olutalo ng’avuma omukulembeze, kyokka nga n’omulimu gwe bakaayanira taguliimu! Eggwanga bwe libeeramu ensonga okuli okusika omuguwa, guno gubeera mukisa munene gye bali.

Okugeza, mu kiseera kino eky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti, Ekyapa mu ngalo oba mu kiseera ky’okunoonya obululu, bafuna mangu omuntu gwe beekwata ow’okukolera.

Eno y’ensonga lwaki bangi bw’obeetegereza obalaba nga bakulaakulanira ku misinde, wadde nga be balwanirira beerya nkuta.

Bangi bazimbye amayumba n’okuvuga emmotoka eziwera, wadde nga basigala bagamba nti embeera ebanyigiriza nnyo.

Bwe kituuka mu kwonoona amannya g’abantu, bano baayitawo anti batunda omuntu gwe baagala ate ne babiggyisa gwe batayagala abawuliriza ne bamwenyiwa.

BAKOLA BATYA OKUYISAAMU ESSIMU?

Abantu bangi basigala beebuuza nti bannaffe abo bo bakikola batya okuyisaamu amasimu?

Anti bangi abalwana okuyisaamu amasimu bateese ku miramwa egy’enjawulo kyokka ne balemererwa.

1 Balina akakodyo k’okukozesa essimu eziwerako okusobola okuyisaamu amangu. Anyiga essimu ssatu oba nnya ez’enjawulo, nga wano abeera ayongedde ku mikisa gy’okumukwata okusinga ggwe akubisa essimu emu.

2 Waliwo n’abakubiriza ba pulogulaamu abakolagana n’abakubi b’amasimu. Babawa ennamba z’essimu zaabwe ez’omu ngalo. Abalala gye balwanira okuyisaamu z’olukale, wano akubiriza olumulaba ku yiye, ng’agiteeka mu muzindaalo ng’ateesa.

3 Olw’okuba baba bamanyi nnyo pulogulaamu ez’enjawulo ze baagala okukubamu, tebatawaana kukuba mu pulogulaamu zitabakolera ng'ez’ennyimba. Batega za byabufuzi, era pulogulaamu emu oluba okuggwa ate nga batega endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...