TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssebaggala owa Ssebaggala and sons akoledde mukyala we akabaga

Ssebaggala owa Ssebaggala and sons akoledde mukyala we akabaga

Added 24th September 2017

Ssebaggala owa Ssebaggala and sons akoledde mukyala we akabaga

 Ssebaggala ng’ayozaayoza mukyala we okufuuka Hajati.

Ssebaggala ng’ayozaayoza mukyala we okufuuka Hajati.

OMUGAGGA Haji Meddie Ssebaggala owa Ssebaggala And Sons akoledde mukyala we akabaga ng’amukulisaayo e Mecca okukola hijja.

Hajati Shamim Namuddu Ssebaggala obwedda ataddeko akaseko yakomyewo okuva e Mecca nga yatuukidde mu makage e Muyenga gye yasanze abagenyi be nga bamulinze ne bamwaniriza n’essanyu olw’okutuuka ku kkula ly’okufuuka Hajati omujjuvu.

Mu bagenyi abeetabye ku mukolo guno kwabaddeko Al – Haji Nasser Ssebagala, Latif Ssebaggala, Hajati Syda Bumba ne bba, Haji Ibrahim Kaddunabi, Rose Kakumba Original fi nal n’abalala.

Olwatuuse baasokedde mu dduwa okwebaza Allah okumusobozesa okumaliriza empagi eyokutaano ey’obusiraamu ekyalese baggya be nga bayiguse ettama.

Hajati Namuddu yeebazizza bba Haji Ssebaggala okumukwatirako n’asobola okutuukiriza empagi eno era n’amusuubiza okubeera omuwulize mu bufumbo bwabwe gattako n’okumuzaalira abalongo kubanga talina kirabo ky’asobola kumusasulamu.

“Mu butuufu Allah bw’akusobozesa n’akulonda mu bantu abangi n’otuukiriza empagi eno olina okuyisa emikolo mu maaso era bulijjo kye mbadde ndowoozaako okutuukiriza era ke kiwedde kati nnina kufumbira mwami,” Namuddu bwe yategeezezza.

Bba Haji Meddie Ssebaggala yagambye nti mu Busiraamu kikulu nnyo okufuuka Haji oba Hajati era aludde ng’akyagaliza maama w’abaana bange kati Hajati Namuddu Ssebaggala omujjuvu era nsaba Allah amuwe by’ayagala ne by’anjagaliza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...