TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Ssekamanya alangidde abakola obwamalaaya mu ddiini.

Bp. Ssekamanya alangidde abakola obwamalaaya mu ddiini.

Added 24th September 2017

Bp. Ssekamanya alangidde abakola obwamalaaya mu ddiini.

 BP Ssekamanya ng'ali mu kusoma mmisa

BP Ssekamanya ng'ali mu kusoma mmisa

Omusumba wa Klezia Katulika ow’essaza ly’e Lugazi eyawummula, Mathias Ssekamanya alabudde Abakatoliki ensangi zino okukomya omuze ogw’okulaaya mu madiini.

Ssekamanya agamba nti eby’embi kwe kuba nti n’ensonga ezibaleetera okuva mu ddiini yaabwe okwettanira eddiini ezimerukawo ensangi zino eziringa obutiko teziriimu ggumba ng’abasinga bagenda lwa bidongo, ssaako be balimbalimba okuwa ensimbi n’eby’amagero.

Ssekamanya okulabula kuno akukoze bw’abadde akulembeddemu mmisa y’okukuza olunaku lwa Catholic Women’s Guild olw’essaza ly’e Lugazi.

Abakyala b’e Lugazi beegattiddwako bannaabwe okuva mu ssaza ly’e Masaka, Kasana-Luweero ne Kampala. Ono era alabudde n’abakyala okukomya omuze ogw’okweyerusa n’agamba nti bwe bataakikomye boolekedde okufuna ekirwadde kya kansa w’olususu.

Alaze okw’ennyamira olw’abantu ensangi zino abalula abalongo emikolo ne bagikola misana ttuku nga balina n’ebizindaalo ne batandika okuwemula ebigambo ebinene nga biwulirwa n’abaana abato.

Ye Fr. John Baptist Lule omukwanaganya w’ekibiina ky’abakyala bano mu ssaza ly’e Lugazi alopedde Bp. Ssekamanya nti abakyala boongedde okwenyigira mu bikolwa eby’okweraguza ssaako okunywa omwenge ne bagwa ku makubo n’abamu ne basulako.

Ye omuyambi wa Bp. Christopher Kakooza omusumba w’essaza ly’e Lugazi nga ye Msgr. Richard Kayondo asabye abakatoliki okuyambako okuweerera abaseminaaliyo kuba abamu abasoma obufaaza amaka ge bavaamu banaku
tebalina nsimbi.

Msgr. Kayondo agambye nti omuseminaliyo buli ttaamu asasula emitwalo
50 ng’omwaka omulamba ke kakadde k’ensimbi.

Ate pulezidenti w’abakyala bano mu ssaza ly’e Lugazi Mary Asumpta Gidudu ategeezezza mu lipoota ye nti basomesezza abakyala emirimu egy’okukola okuggyamu ensimbi wadde ng’abakyala okuva mu bisomesa ebimu baddiridde mu buweereza bw’ekibiina kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...