TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannaddiini bawabudde ku kiteeso ky'emyaka gya Pulezidenti

Bannaddiini bawabudde ku kiteeso ky'emyaka gya Pulezidenti

Added 25th September 2017

Bannaddiini bawabudde ku kiteeso ky’emyaka gya Pulezidenti

Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira

Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira

BANNADDIINI bawabudde ku ngeri ababaka ba Palamenti gye balina okukwatamu ekiteeso ekiri mu Palamenti ekigezaako okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti . Omulabirizi wa Bukedi, Rt. Rev. Samuel Egesa eyabadde omubuulizi omukulu mu lukuhhaana lw’enjiri oluggalawo omwaka e Namirembe yasabye ennongoosereza mu Ssemateeka eggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti esooke etwalibwe mu bantu basalewo eky’okukola nga tennayisibwa.

Bp. Egesa yategeezezza nti abantu be balonda ababaka ne babasindika mu Palamenti era bano balina okuddayo babeebuuzeeko nga tebannaba kuyisa mateeka mu Palamenti. Yagambye nti wabeewo akalulu k’ekikungo, abalonzi basalewo ku kawaayiro 102b kuba bwe kakyusibwamu, kijja kunyigiriza oba kuyamba bo. “Ababaka be tusindika mu Palamenti batono nnyo.

Tebayinza kusalawo ku nsonga ya maanyi ng’eno, nsaba bawe abalonzi omukisa nga bateekawo akalulu k’ekikungo abantu beesalirewo okusinga okukozesa ababaka abataweza na kitundu ky’abantu mu ggwanga,”Bp Egesa bwe yategeezezza.

Yasabye ababaka ba Palamenti okuggya obukyayi, obusosoze n’enkwe mu biteeso bye bakola mu Palamenti. Era yennyamidde olw’ettemu erisusse mu ggwanga naddala ku bakyala nga n’abamu basooka kubasobyako.

Akulira ekitongole ekibuulizi ky’enjiri mu bulabirizi bw’e Namirembe, Rev. Samuel Muwonge yasabye ababaka okukomya okwerumaaluma n’okulwanagana wabula basse kimu okutwala eggwanga mu maaso. “Ebiri mu ggwanga bituuse okuvaako abamu okutya. Abamu bagamba nti ‘gikwateko’, ate abalala ‘togikwatako’. Tusaba Palamenti eyite bannaddiini tusabire wamu nabo ensonga ziteesebweko bulungi,” Rev Muwonge bwe yategeezezza. Yasoomoozezza abasumba b’abalokole abavumirira Ekkanisa ya Uganda nga bwe mutali mafuta na kuwonyezebwa n’asaba Abakulisitaayo abaabula okukomawo mu Kkanisa gye baazaalirwa.

E Nakasero Ku kkanisa yaAll Saints e Nakasero, amyuka cansala wa Uganda Chrisitian University e Mukono, Rev. Can. Dr. John Senyonyi bwe yabadde abuulira yasabye ababaka ba Palamenti obutasikahhana bitogi nga bateesa ku kiteeso ekiriwo wabula bakozese amagezi Katonda ge yabawa bateese bulungi.

Yagambye nti buli muntu alina endowooza ye wabula enjawukana tebalina kuzigonjoola nga bawoggana nga bwe baakoze mu lutuula olusembyeyo. “Ababaka beewe ekitiibwa era bakyuse mu nneeyisa bwe baba ku mirimu gyabwe,” bwe yagambye.

Rev. Can. Micheal Mukhwana, akulira ekkanisa eno yagambye nti basazeewo okutambulira ku mulamwa ogumba nti, “Kampala edde eri Katonda ejjuzibwe amagezi” era baagala abantu badde eri Katonda kubanga waliwo ebikolwa bingi ebyesittaza ebikoleddwa mu Kampala omuli okuttihhana, poliisi okukwata abakulembeze mu ngeri etesaanidde n’ebigenda mu maaso mu Palamenti ebitali birungi .

Beti Kamya ayogedde Minisita wa Kampala, Beti Kamya yennyamidde olw’ebikolwa by’ababaka b’oludda oluvuganya ku Lwokuna n’ategeeza nti kino tekyalaze kyakulabirako kirungi eri abalonzi. “Mu Palamenti buli omu alina endowooza ye naye kikyamu okusika omuguwa n’okwerangira mu lujjudde n’abamu okulwana.

Nsaba ababaka balwanirireeddembe nga bayita mu kuteesa n’okwebuuza kuba abantu bye balaba bibongera okutya mu mitima nabo ne basalawo okutwalira amateeka mu ngalo,” bwe yagambye.

Mu lukuhhaana e Namirembe, omulabirizi Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira yategeezezza nti obulabirizi busobodde okutereeza amaka, ebitongole eby’enjawulo, okusabira ebizibu ebiri mu ggwanga n’ebirala nga bayita mu njiri etegekebwa mu bulabirizi buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...