
Omuserikale ng’atwala Nakigozi (muka Lukwago eyattiddwa) ku poliisi.
Bya PADDY BUKENYA
OMUSIGUZE akkakkanye ku nnannyini mukazi n’amutemaatema amajambiya n’amutta lwa kubalondoola.
Adduse poliisi n’ekwata omukazi avuddeko ettemu lino.
Thomas Kitagenda ow’emyaka 35, omutuuze w’e Bunza Kamugombwa mu Ggombolola y’e Kalamba mu Butambala yakkakkanye ku mutuuze munne gwe yasigguddeko omukazi, Andrew Lukwago 25, n’amutematema oluvannyuma omulambo n’agusuula ku kkubo.
Lukwago okuttibwa kiddiridde okugezaako okulondoola omusiguze Kitagenda abadde amututteko mukazi we Proscovia Nakigozi kyokka bw’abakutte lubona nga banyumya akaboozi mu nnyumba ya Kitagenda, afulumye na jjambiya ne batandika okulwana okukkakkana nga nnannyini mukazi bamutemyetemye ne bamutta.
Kitagenda bwe yakomyewo mu nnyumba, muka Lukwago yalabye omusaayi ku mpale ne yeekengera, n’amubuuza ekibaddewo n’amulimba nti babadde babbi era alwanaganye nabo n’abakuba ne badduka.
Wabula oluvannyuma yakitegedde nti abadde bba Lukwago. Bazzeemu ne beebaka era obudde bwabadde bwakakya, abatuuze kwe kulaba omulambo gwa Lukwago ku kkubo erikyama ewa Kitagenda ne batemya ku poliisi y’e Kibibi.
Kitagenda olwalabye poliisi n’adduka olwo poliisi kwe kukwata Nakigozi (Muka Lukwago).
Nakigozi bw’atuusiddwa ku poliisi y’e Kibibi agambye nti Lukwago abadde asusse okumutulugunya kwe kufunayo anaamunaazaako ennaku kyokka teyategedde byabaddewo kiro.
Agambye nti Kitagenda yasoose kumulimba nti baabadde babbi era abakubye emiggo ne badduka era yakitegedde luvannyuma nti abadde Lukwago. Yagambye nti tafumbirwangako Lukwago wabula Lukwago ye yafumbirwa ewuwe era abadde amukooye olw’okumutuntuliza mu maka ge.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Butambala, Wiliam Basiima agambye nti Nakigozi aguddwako omusango gw’obutemu nga bwe banoonyereza oba yayambyeko muganzi we okutta bba nga n’okumunoonya bwe kugenda mu maaso.