TOP
  • Home
  • Amawulire
  • kkooti egobye omusango gwa Richard Lumu gwe yawaabira Henry Makumbi

kkooti egobye omusango gwa Richard Lumu gwe yawaabira Henry Makumbi

Added 27th September 2017

kkooti egobye omusango gwa Richard Lumu gwe yawaabira Henry Makumbi

 Henry Makumbi azzeemu okukakasibwa ku kifo ky'omuba wa Mityana South

Henry Makumbi azzeemu okukakasibwa ku kifo ky'omuba wa Mityana South

KKOOTI  ejulirwamu    egobye   okusaba kwa Richard   Lumu (DP)  kweyassaayo ng'awakanya okulondebwa   kwa  Henry  Makumbi  Kamya (NRM) eyawangula ku kifo ky'omubaka w'e Mityana South.

Mukyala wa Makumbi wakati ssaako ne mutabani we ku ddyo nga bali ku kkooti ya Twed Tours olwaleero

 Lumu  yawaabira  Makumbi  ng"agamba nti    akakiiko   k'ebyokulonda  kaakola nsobi   okuwandiisa okuvuganya  ku kifo  kino  kubanga   teyewandiisa  ng'omulonzi  wa   Mityana  South ng'agamba nti yeewandiisiza mu Mityana Munisipaali.

Lumu  yayongera n'ategeeza nti   Makumbi   bwe yali   yesimbawo  ku kifo  kino  teyasooka  kulekulira kifo  kyeyaliko  ekya  RDC  owa Disitulikiti  ye  Luweero .

Abawagizi ba Makumbi bajaganya oluvannyuma lw'omubaka waabwe okuwangula omusango

Omusango   guno  Lumu   yasooka  kugutwala  mu kkooti enkulu omulamuzi Joseph Mulangira n'agugoba.

Abalamuzi basatu nga bakulembeddwaamu Steven Kavuma, Alphonse Owiny Dollo ne Cheborion Barisaki bategeezezza Lumu yalemwa okuleeta obujulizi obumala obulaga nti omubaka Makumbi teyasooka kulekulira kifo kya RDC okujja ku ky'obubaka bwa Palamenti.

Abalamuzi bongeddeko nti si kyatteeka nti omuntu alina okwewandiisizza mu kitundu mwaba agenda okwesimba. Ekikulu omuntu olina okubeera nga wewandiisa ng'omulonzi mu kitundu kya Uganda kyonna.

Richard Lumu ng'atunula binsodedde oluvannyuma lwa kkoti okugoba omusango gwe gweyawaabira Makumbi

Abawagiz ba Makumbi bazinye amazina n'okukuba enduulu nga bwebakudaalira Lumu nti addangayo ne yewaabyawaabya.

Ye Omubaka Makumbi ensalawo ya Kkooti yamusanze Namibia gyeyagenda ku mirimu gya Palamenti emitongole.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...