TOP

Abeebijambiya bazzeemu okulumba Masaka

Added 27th September 2017

Abeebijambiya bazzeemu okulumba Masaka

ABATEMU abeebijjambiya bazzeemu okulumba Masaka. Batemye abafumbo ng’eno bwe babakanda okubawa ssente n’ebisumuluzo bya pikipiki.

Ettemu lino lyabadde Kyamuliimbwa mu ggombolola y’e Kabonera e Masaka ku luguudo lw’e Kyotera. Abafumbo abaatemeddwa ye Nyansio Kagolo ne mukyala we Teddy Nakyanzi nga baafunye ebisago eby’amaanyi ku mutwe n’emikono era bajjanjabirwa mu ddwaaliro lya NEEMA Medical Center mu e Kyanjale.

Abatuuze baategeezezza nti batya okudduukirira bannaabwe ababa balumbiddwa wadde nga bakubye enduulu kuba abatemu babadde bakyukira abaduukirize nabo ne babatema.

Abatemu baagenze okuyingirira abafumbo bano nga waakayitawo wiiki bbiri zokka nga balumbye akabuga k’e Kabonera ne batta Godfrey Mujjumba ne Ibrahim Kulabako mu ttemu eryasitudde n’Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale ne yeetaba mu lukiiko lw’ebyokwerinda okutema empenda z’okulimalawo.

Poliisi yavuddeyo n’etegeeza nga bw’egenda okukola ekisoboka okukomya ettemu e Masaka n’ekwata abamu ku bateeberezebwa okwenyigira mu ttemu ly’e Kabonera kyokka n’ebayimbula.

Omwogezi wa poliisi e Masaka, Lameck Kigozi yategeezezza nga poliisi y’e Masaka ne Flying Squard bwe basitukiddemu nga baakategeezebwa ku bulumbaganyi ne batandika omuyigo kyokka tewali gwe baakutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...