TOP

Vision Group ejjanjabye abantu ku bwereere

Added 29th September 2017

Vision Group ejjanjabye abantu ku bwereere

 Abalwadde nga beekebejjebwa ku kibangirize kya ky'eggali y'omukka

Abalwadde nga beekebejjebwa ku kibangirize kya ky'eggali y'omukka

Bya Sandra Namirimu

MUNKOLA ya kampuni ya Vision Group ey'okuddiza ku ba kasitooma baayo n'okutuusa empeereza zaabwe eri abantu ba wansi etaddewo olusiisira lw'eby'obulamu olugendereddwamu okujanjaba abantu ku bwerere.

Olusiisira luno lwakumala ennaku bbiri nnamba nga lwagguddwaawo olunaku lwa jjo kibangirizi kya Railway grounds mu Kampala ng'amalwaliro ag'enjawulo gakwataganidde wamu n'ekitongole kino okuwa abantu okukeberebwa n'okujanjabwa ku bwerere.

Agamu ku malwaliro ageetabye mu kujjanjaba abantu kuliko  Aghakhan, Dr. Agarwals erijanjaba amaaso, IHCC abajanjaba abaana obulwadde bw'amatu, n'amalala mangi.

Abalwadde abasinze okujumbira olusiisira luno kubaddeko abalina Hepatitis B, omusujja gw'ensiri, okukebera akawuka ka siriimu, okugaba omusaayi, obulwadde bw'amatu, amaaso, okukebera puleesa, omugejjo, Ssukaali n'endwadde endala nnyingi.

Omukwanaganya w'enkola y'okuddiza abantu mu kampuni ya Vision group Joseph Banyu ategeezezza nti baalabawo obwetaavu mu bantu okujanjabibwa wabula nga tebalina nsimbi era yensonga lwaki baafuna enkwatagana n'amalwaliro gano bayambe abantu.

Ono ayongerako nti ekikulu mu lusiisira luno kukubiriza abantu kujjumbira kwekebeza endwadde ne wankubadde nga tezibaluma wabula kibayambe okumanya emibiri gy'abwe nga bwegitimiridde.

Ono era ayongerako nti kino bakikola emirundi ebiri omwaka era omulindi guno basuubira abantu abasukka mu mitwalo 10 wabula nga wayogeredde bino nga bakafuna abantu 5000.

Ritah Kitandwe akiikiridde ab'eddwaliro lya Mengo ategeezezza nti abantu bangi beetaaga omusaayi era yensonga lwaki bbo tebaleese kujjanjabwa kulala wabula basazeewo abantu okugaba omusaayi.

Abamu ku bantu abajanjabiddwa bebaziza ekitongole kya Vision okubayamba okubawa abasawo ababajjanjabidde obwerere, era ne bongerako nti bategedde endwadde ezibadde zibasumbuwa nga babadde tebazimanyi era nnyingi zebazudde nga sizezibaluma wabula nga zikola nga bubonero ku nwadde ennene.

Leah Kasule abadde asomesa abakyala abasabye okugenda mu malwaliro okwekebeza kubanga endwadde zino ebbiri zezisinga okutta abakyala ensangi zino, ono agamba buli ddwaliro lya gavumenti likebera obulwadde buno ku bwerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....