
Brian White ng'amansa ssente mu bbaala ya Auto Spa
“Vva mu bigambo yogeza ssente bw’oba tolinaamu weyiiye awalala. Brian Whites nze aliko.”
Bino bye bimu ku bigambo mwana mulenzi Brian White obwedda gwe bayita omugagga omuto aliko bye yakozesezza wakati mu lutalo lw’ebigambo olwagobye omugagga Jack Pemba mu bbaala.
Brian White yatuuse ku bbaala ya Fusion Auto-spa e Munyonyo ku ssaawa 3:00 ez’ekiro era ono yatuukidde mu ‘kuddugaza’ mmeeza ennene gye baamutereddewo ne mikwano obwedda kwebanyweera omwenge ogwa buli kika.
Waayiseewo essaawa ng'emu, Pemba eyabadde ne mikwano gye nabo nebayingirawo kyokka ono yasanze Brian White akalidde mu kifo kye (Pemba) waatera okutuula
Pemba yayise akulira ekifo kino n'amugamba amuterereeze ekifo kye atule n’abantu be kyokka ono yakamutemye nti abaliwo tasobola kubaggyawo kubanga baatudde dda okuggyako nga bamufunira ekifo awalala Pemba n'abigaana.
Brian White ne mikwano gye okwabadde ne Eddy Kirabira ekikolwa kya Pemba okwagala okubagyisa mu kifo kyabanyiizizizza nga bagamba nti kubeera kubayisamu maaso era wano batandise okumulangira ebizibu by’amabanja byatubiddemu ensangi zino abalala nga bwe basaakanya nti oyo yaggwaamu.
Pemba yalabye embeera eri bwetyo yakoonye ku banne ne bafuluma era Brian White okukakasa nti ssente azirina kye yayise Pemba okumunyiiza yasiseeyo akavangata ka ssente obw’emitwalo etano etaano omugatte obukadde 5 ze yamansizza n’okugabira abantu nga bw'awera nti “Pemba bwaba musajja era ng’alinamu akomewo mmulage kye bayita ssente.”
Nga tannaba kugenda ku Auto-spa, Brian white ne banne basoose ku KK- Beach e Ggaba emisana gye bamaliddeko olunaku nga agabula abantu ku biici.
Brian White y’ani era ssente azigya wa?
Amannya ge amatuufu ye Brian Kirumira omutuuze w’e Munyonyo era ng’alina n’amaka e Ntebe
Mwana nzalwa y’e Mityana. Musuubuzi akola emirimu egy’enjawulo alina kkampuni ezimba, okugula n’okutunda amayumba kuno ne mu ggwanga lya Yitale ennaku zino gy’abeera.