TOP

Abaagula ettaka lya Namasole basattira

Added 29th September 2017

Abaagula ettaka lya Namasole basattira

ABANTU ab’enjawulo abaagobwa ku ttaka lya Namasole e Kyaggwe beekubidde enduulu ewa Katikkiro wa Buganda, ku poliisi ne mu boobuyinza abalala. Ettaka lino lisangibwa Kyaggwe mu disitulikiti y’e Buikwe.

Liri ku mwalo e Golomolo, Busagazi ne Kigaya. Abamu ku baliguzeeko kwe kuli minisita omubeezi ow’amazzi, Ronald Kibuule agamba nti yaligula mu mateeka era ekyapa kimuli mu ngalo. Kyokka Buganda Land Board eyanukudde n’erabula abazze bagula bongere okwegendereza kuba ekyapa ekyasooka ekitongole baakiteekako envumbo.

Dennis Bugaya omwogezi wa BLB yategeezezza nti lino ettaka lya Bwanamasole era Obwakabaka bwa Buganda bulivunaanyizibwako butereevu. Kiddiridde abantu okuvaayo ne beekubira enduulu nga balumiriza nti Musa Kateregga azze abaguza ettaka kyokka abamu bagenda okutuukayo nga baagula mpewo.

Bagamba nti ono yajingirira omukono gwa Namasole, Sarah Natoolo n’ebiwandiiko ebirala by’azze akozesa okukyusa ettaka lino okuggya ekyapa mu mannya ga Namasole okukizza mu mannya g’abantu ssekinnoomu. Kateregga yategeezezza Bukedde nti bwe wabaawo amuvunaana agende mu mbuga z’amateeka.

EDMOND BATEMYETTO AWANDIIKIDDE KATIKKIRO

Ebiriwo byonna nga bigenda mu maaso, Batemyetto yawandiikidde Katikkiro Mayiga ebbaluwa ku ntandikwa y’omwaka guno n’asensula Musa Kateregga. Yategeezezza nti Kateregga musajja Musoga, Namasole gwe yeesiga amusolooleze obusuulu wabula akuhhaanya ssente ezitakka wansi 2,000,000/- buli lunaku naye Namasole afunako nga 100,000/- omwezi. Agamba nti ettaka lino alipangisa abantu ne balikolerako nga buli omu asasula ssente ezitakka wansi wa 200,000/- buli sizoni, ekitegeeza nti basasula 400,000/- buli mwaka kuba omwaka gulimu sizoni bbiri.

Ettaka lino liriko abasenze abasukka mu 50,000. Bingi ebikoleddwa ku ttaka lino omuli okulitunda, okukyusa ebyapa, okugabako liizi, okulisinga mu bbanka ne beewolerako ensimbin’ebirala nga byonna bikolebwa Kateregga agamba nti abikola ku lwa Namasole! Mu kiseera we baatudidde yiika 85 ku ttaka ly’e Golomolo nga baliguza minisita Ronald Kibuule, Namasole teyakitegeddeko. Ettaka lino baalitunze obukadde 200 kyokka ne ssente zino teyafunyeeko.

Baatutegeezezza nti ku bukadde 200, Kateregga yakutteko 17,500/- ze yaweerezza Namasole ku ssimu ya muzzukulu we Patrick Kiggundu. Yannyonnyodde nti bakyala ba Kateregga 16 bonna azze abazimbira ennyumba n’okubagulira emmottoka era beeyagala kyokka Namasole taganyuddwa.

NAMASOLE SARAH NATOOLO AYOGEDDE Nazaalibwa mu 1927 era nze musika wa Irene Drusilla Namaganda. Ettaka nasigala ndirabiria nga bwe yalifuna mu ndagaano ya 1900. Endagaano yawa Namasole mayiro 16 nga bw’afa, 6 zifuuka zize ng’omuntu ate 10 ne zidda mu mikono gy’oyo azze mu bigere bye. Mbeera Makindye Lusaka. Ekiseera ekyasooka ng’abantu abali ku ttaka e Golomolo, Kigaya, Koko ne Busagazi nga bawa obusuulu era mwe twaggyanga ekyokulya. Lyatandikira ku Evelyn Kulabako Namasole wa Chwa gwe lyavaako okudda ku Namaganda gwe nasikira.

Ettaka ly’e Kigaya lyali lya Yonasaani Kayizzi n’awaako Namaganda yiika 60, bwe nagenda okulikuba okulizza mu mannya ga Natoolo, ne bategeeza nti lifisseeko. Twalina ensonga ezaatuwuubanga mu kkooti waliwo eyali abba ettaka lya kitange ng’agamba nti Lwebuga y’amuwadde. Eno gye namanyira Kateregga nga mpulira abantu bamuyita ‘Defence.’ Nalowooza nti mwesimbu ne mmusaba ansoloolezenga busuulu ku ttaka ly’e Kigaya.

Sirina kye nfunye mu Kyaggwe, byonna Kateregga yabyekomya.Olumu yajja n’agamba nti Ssekalaala gy’alundira ebyennyanja ayagala okumuwa w’ayisa ekkubo. Yahhamba mmuwe yiika nnya anfunire ekyapa ne nzikiriza naye simanyi oba yalifuna kubanga n’ekyapa ekyange saakirabako. Olulala yajja n’omuntu n’antegeeza nti Ssekalaaka y’amusindise n’ajja ewange e Makindye. Ono yawa Kateregga ebbaasa gye yasumulula n’aggyamu 100,000/-. Yaggyako 60,000/- n’azissa mu nsawo ye nze n’ampaako 40,000/-.

Bwe namubuuza lwaki asumuludde ebbaasa eteri yiye n’amboggolera! Kateregga simutumangako kwewola ku muntu yenna kusingayo ttaka wadde okulitunda. Omuwandiisi w’ebyapa yakkiriza atya okukyusa ekyapa kya Namasole of Buganda okukizza mu mannya g’omuntu nga tafunye lukusa lwange? Kateregga asindiikirizza abantu abali ku ttaka kyokka ng’okuva edda nkolagana nabo.

Ettaka lyaliko ebifo byaffe eby’ennono ebisaana okukuuma byonna babisaanyizzaawo.BAWANDIIKIDDE KIBUULE NTI YAGULA MPEWO Julius Kadi yawandiikidde minisita Kibuule n’amutegeeza nti ettaka yiika 85 ze yagula ku Kateregga yagula mpewo kuba ettaka lya Namasole of Buganda so si Namasole aliko ng’omuntu.

KATEREGGA NE KIBUULE BOOGEDDE Kateregga yatusabye tugambe amuvunaana amuwawaabire. Bwe twamutegeezezza nti waliwo abawandiikidde Katikkiro Mayiga, kwe kutubuuza: Kati oyagala nkunnyonnyole ku ttaka lya Katikkiro oba Namasole? Twamutegeezezza nti tetumuvunaana, twagala atunnyonnyole ku bimwogerwako, kwe kutuddamu nti: Bbaasi, anti tewali anvunaana.

Kati gamba anvunaana ampawaabire. Minisita Ronald Kibuule: Oyo yenna agamba nti nagula mpewo alimba kubanga ettaka gyeriri. Liriko abasenze era nzize mbasasula, ettaka liriko ekyapa era nkirina. Naligula era nalisasula ssente zange nga Munnayuganda omulala yenna. Twatuula mu lukiiko era n’abaana ba Namasole baaliwo. Yenna alowooza nti ettaka siryagala ng’ate naligula, amala budde. Awakana agende mu kkooti, Uganda erimu amateeka.

BUGANDA LAND BOARD ETANGAAZIZZA:

Etteeka eryakomyawo obwakabaka lirambika ebintu byonna okuli n’ettaka. Ettaka eryo lya Bwanamasole likolebwako Buganda Land Board (BLB). Bwe twamanya nga waliwo abaagala okulisaalimbirako ne tuliteekako envumbo. Omuntu yenna agenda n’agula, asobola okubeera ng’afunye ekyapa ky’atambula nakyo naye ekyo ekyasooka tukirina era tekisalibwangako. Minisita bw’aba nga yaguze, ayinza okuba nga yaguze bibanja.

Mmuwa amagezi yeeyanjule mu BLB kuba yandiba nga yagudde mu katego k’abantu abakyamu. Ettaka lino liri mu BLB, lya Bwakabaka era ligwa mu ofiisi ya Namasole wa Buganda. Yenna alowooza nti alina ekyapa tusobola okuyita mu makubo ag’enjawulo kuba etteeka liwa omuwandiisi w’ebyapa obuyinza okukisazaamu.

BAWANDIIKIDDE POLIISI

Salim Muwaba ow’e Mukono yawandiikidde Asan Kasingye omwogezi wa poliisi. Yeemulugunya ku Kateregga, nti yaguza minisita Ronald Kibuule yiika 85, yiika 365 ezaasigalawo n’aziguza Godfrey Banana nnannyini All Saits Primary School e Namataba.

Yiika 350 ze yaguza Banana yazzeemu n’aziguza abantu abalala n’okulisingira abawola ssente n’abaggyako obulindo bw’ensimbi nga yeewola. Abamu ku b’aguzizza ettaka lino kuliko; Peter Busagwa w’e Gayaza eyasasula obukadde 20, Elibright Semboga yasasula obukadde 35, Roger alina kkampuni epangisa mmotoka mu Kampala yasula obukadde 39. Abalala kuliko; Munnamateeka Doreen Nanvule yamuggyako obukadde 35, Paul Kanyankole yamuggyako obukadde 42 ne Fred Kiiza eyasasula obukadde 20 nga bamusuubizza okumukkirizaokusima omusenyu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...