
Owa Poliisi ng'azikiza omuliro ogukumiddwa abeekalakaasi
ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya Premier Center ekiri wakati wa Nana Center ne Capital Center ku Nabugabo beekalakaasizza olw’omugagga okugula ekizimbe n’ayongeza ssente z’obupangisa, amasannyalaze, kabuyonjo n’ebirala.
Ekizimbe kino kyabadde kya mugagga Bosco Muwonge n’akiguza Daudi Mutebi ku nkomerero y’omwezi oguwedde n’ayongeza ssente z’obupangisa.
Abasuubuzi enteekateeka y'okwekalakaasa bagitandika ku Lwamukaaga era omugagga olwakitegedde kwekugenda ku kizimbe n’aggala edduuka lya Michael Nsimbe ssentebe w’abasuubuzi.
Okuggala edduuka lya Nsibe ne kuteekebwako n’abaserikale ab’emmundu, yeyabadde entabiro y’abasuubuzi okukwekalakaasa era olwaleero, bakedde kukuma muliro mu luguudo ekiwalirizza poliisi okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.
Mu kaweefube w’okuzza emirembe, poliisi ng’ekolera wamu n’ab’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abapangisa mu Kampala ekikulemberwa Mohammad Katanyoreka, bakoze ekisoboka kyonna okulaba ng’abasuubuzi basisinkana Mutebi b’ogere ku nsonga eziriwo wabula nebafunamu looya we Haruna Kagodo.
Kagodo ategeezezza abasuubuzi nti, yeyayongezza ssente era buli ekikwata ku kizimbe kiri mu mikono gye n’abannyonnyola n’ensonga lwaki yayongezza ekizimbe n’abasuubiza nti, agenda kubasisinkana ku Ssaawa 9:00 olwaleero okutereeza ebyasobye mu kugereka ssente z’obupangisa empya.