TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Brian white kati yaali ku ntikko y'abagagga abato;Adduukiridde abazadde ne school fiizi

Brian white kati yaali ku ntikko y'abagagga abato;Adduukiridde abazadde ne school fiizi

Added 2nd October 2017

Brian white kati yaali ku ntikko y'abagagga abato;Adduukiridde abazadde ne school fiizi

 Brian white ng'akwasa abazadde baamukaabiridde ebizibu bya fiizi ssente ezizza abaana ku masomero

Brian white ng'akwasa abazadde baamukaabiridde ebizibu bya fiizi ssente ezizza abaana ku masomero

“Ndi muntu agya mu buli mbeera. mu bbaala ogya kusangayo nga nsanyusa n’okugabula abaddigize ate n’abatalina mwasirizi oba abali mu bwetaavu nabo mbayamba”

Bwatyo Brian White abamu gwe baakazizzaako ery’omugagga omuto aliko bwatandise ng’ayogera eri ekibinja ky’abakyala abavudde mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo ‘abamusazeeko’ ng’enjogera y’ennaku zino bwabadde yakatuuka ku wooteri ya Serena gy’abadde agenze okubaako minisita gw’asisinkana.

Bano basoose kumutegeeza nga bwe baawulidde nti ayamba abantu era nabo bazze abayambye ku bizibu ebibasuza nga batunula.

Omu kw’omu batandise okumuyitiramu ebizibu byabwe nga abasinga bibadde bya fiizi za baana era bano okumukakasa nti tebalimba buli omu obwedda amulaga ‘bank slip’ y’essomero.

Bano abawadde ssente eziri wakati wa 1,000,000/- ne 2,000,000/- buli omu okusinziira ku bwetaavu kyokka ababadde baagala eza kapito okubaako kye beetandikirawo nga bagamba baagobebwa okuva ku nguudo z’omu Kampala nabo aliko ssente entonotono z’abawadde n'abasuubiza okwongera okubayamba nga aguddewo offiisi mu butongole abantu abalina ebizibu we bagenda okumusanga.

Brian White ng’amannya ge amatuufu ye Brian Kirumira yeegulidde erinnya olw’engeri gy’alagamu ssente era ennaku zino abantu bamanyi n’okumuteega mu bifo ebisanyukirwamu atere abagulire ku by’okunywa n’okubawa ku ssente enkalu kyokka Brian White agamba kino akikola olw’omutima gwe omugabi era ayagaliza buli muntu okubeera obulungi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....