TOP

Ensonga ezisiba abavubuka mu mukwano gw'amaziga

Added 3rd October 2017

Ensonga ezisiba abavubuka mu mukwano gw’amaziga

BW’OTUNUULIRA omukwano gw’abavubuka ennaku zino n’ebintu bye bayitamu oyinza, okulemwa okwawula oba ddala bali mu mukwano oba bali mu kkomera anti olw’amaziga ge bakaaba.

Wabula ekyewuunyisa, bangi beesibye mu mukwano ogw’obulumi nga bagamba nti okuva ku baagalwa baabwe waakiri okufa. Twanyumizaamu ne baanabawala abaali babaddeko mu mukwano omutali ssanyu ne batuwa ensonga zaabwe.

Mariam Kintu ow’e Banda agamba nti ennaku zino omukwano ogutaliimu kuyomba na kulwana tegunyuma, naye buli munno lw’akukubako waakiri oluyi omukwano gweyongera.

1 Agamba nti akaboozi nako kasiba nnyo abawala mu mukwano ogw’amaziga. Omuwala bw’aba n’omuvubuka nga mwenzi, amukuba wabula nga bwe kituuka mu nsonga z’omukwano, muzibu. Kino kisobola okumusiba ku muvubuka ono nga ne bw’afuna omusajja omulala, matatu tazicanga ng’oli omwenzi we, bwatyo n’agumira omwenzi nga wadde amusibye mu maziga.

2 Olumu batya embeera y’obw’omu. Abawala abamu batya okubeera obwannamunigina wadde ng’abaagalwa baabwe babayisa bubi. Oluusi aba alowooza nti bwe banaamukyawa tajja kufuna mulala amwagalwa bwatyo.

Kale n’asalawo okugumira mu mbeera embi. Ate abalala baba n’essuubi nti osanga mu maaso ayinza okutereera ne bafumbiriganwa. Petrina Arinda agamba nti abawala abamu batya kuswala mu bannaabwe bwebatyo ne bagumira abaagalwa baabwe wadde nga babayisa bubi kubanga batya okuswala mu mikwano gyabwe.

3 Abawala abamu bamanyi okwesomera ku bannaabwe ng’alina omulenzi amusuuta era nga bamwesiimisa, kati okumukyawa, alabira ddala ng’agenda kuswala mu banne n’asalawo okuguma, Petrina agamba nti kino atera kukiraba mu bawala b’asoma nabo ku yunivasite.

4 Wabula abawala abamu okugumira mu mukwano gw’amaziga babeera n’ekigendererwa ekya ssente. Omuwala bw’amanya nti omuvubuka gw’alina alina ku ssente oba ng’ewaabwe bagagga, afuba okulaba ng’omuvubuuka oyo tamuta ne bwamukuba oba okumugattako abwala abalala aba tafaayo kasita amuwa ssente ne by’ayagala. 5 Oluusi endabika y’omuntu ereetera omulala okumwesibako wadde ng’amuyisa bubi. Omuvubuka ng’alabika bulungi aba amanyi buli muwala amwegwanyiza kale n’akuyisa bubi ng’akimanyi toyinza kumukyawa.

6 Abavubuka abakozesa ebiragalalagala balina omukwano ogwewuunyisa nga bw’atuuka mu kukola omukwano, omuwala amuyisa ng’ensolo, amukuba empi, n’amusika enviiri n’oluusi okumunywesa ku njaga ng’ate ennaku zino, baanabawala abamu bo bagamba nti omukwano bwegutyo gwe gubanyumira era omuvubuka bwatyo gw’afi irako.

Musumba Richard Kasumba kkansala w’ekitongole kya Aristaka Foundation e Busiika agamba nti ensonga nnyingi ezisibye abavubuka mu mukwano ogw’amaziga ekibaviirako okwonoona emikisa gyabwe egy’omu maaso.

1 Kasumba agamba nti kino tekiri ku bavubuka bokka wabula n’abafumbo bangi bagumira mu malya wadde nga tebafunamu ssanyu. 2 Agamba nti okugumira ebizibu kyabutonde eri abakyala ky’ova olaba n’abawala bwe babeera mu mukwano bagumira embeera embi eza baganzi baabwe.

Omwana omuwala bw’ayagala omuntu, amwagalira ddala n’omutima gwe ky’ova olaba ng’olumu aba n’omulenzi nga mubbi naye n’aguma olw’omukwano gw’alina gy’ali. 3 Abawala abamu bamanyi okwefumbiza, oli n’adduka awaka n’agenda n’omulenzi, bw’atuuka eyo, akalenzi ne kamubonyabonya nga talina gy’adda bwatyo n’asalawo kuguma n’omulenzi we ng’ate singa awaka abadde yavaayo mu mirembe yandibadde asobola okuddayo n’awona okubonaabona.

4 Obwavu y’emu ku nsonga ezivaako abawala n’abalenzi okuba mu mukwano ogw’amaziga. Bangi ku bo beefunirayo ba sugammami oba ba sugaddadi ababayisa obubi mu nsonga z’omukwana, oluusi omuvubuka ow’emyaka 20 afuna omukazi ow’emyaka 50 ng’ayagala bakole omukwano buli kiseera ng’omuvubuka takyagala wabula n’amuguma ng’ayagala ssente.

5 Abazadde abasindiikiriza abaana baabwe okufumbirwa nabo bakola ky’amaanyi okusiba abaana bano mu mukwano ogutaliimu ssanyu. Abazadde bangi abanoonyeza abaana baabwe abaagalwa nga bo abaana tebabeesiimidde, omwana bw’atuuka mu bufumbo ng’omusajja oba omukazi amuyisa bubi, taba na kyakukola okuggyako okuguma anti ng’atya okunyiiza bazadde be.

6 Oluusi omwana omuwala bw’akulira mu famire nga ya bizibu, nga taata ayisa bubi maama we, bw’akula kimuleetera okuguma ng’afunye omusajja atali mutuukirivu anti ng’amanyi nti omukazi alina okugumira ebizibu. Kasumba akubirizza abavubuka okwetegereza abaagalwa baabwe nga tebannabafumbirwa. Kino kikuyamba obutagwa mu mukwano n’abantu abatali batuufu. Buli lw’osaba Katonda, musabe akuleetere omuntu omutuufu ajja kumukuleetera ate akwagala ebya namaddala. Agamba nti omuntu akwagala alina kukuleetera ssanyu so si nnaku ate abeera n’esuubi eryokukuwasa bwatyo aba tatya kukulaga mu banne wadde mu beηηanda ze. Wabula singa ofuna omuntu nga gye mugenda takwanjulayo nga muganzi we, weesalire mangu amagezi. Kasumba akubiriza abazadde okufaayo okwogera n’abaana baabwe naddala abamalirizza okusoma bamanye omuntu omutuufu kuba bw’oyogerako n’omwana wo ku bintu by’omukwano kimuyamba okumanya omuntu omutuufu bw’abeera. Akubiriza abavubuka okukomya okwefumbiza kuba buli lwe weefumbiza, tofuna mikisa gya bazadde okukkakkana ng’omuntu gw’ofunye akuyisizza bubi n’oluusi okukutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...