
Brig. Kibirango byamusobedde.
Bya ALICE NAMUTEBI
AKULIRA bbaalakisi y’e Mubende omujjanjabirwa abajaasi abatuusiddwaako obuvune, Brig. George Gyagenda Kibirango, ebigambo bimubuze mu kakiiko k’ettaka bwe bamulaze obujulizi bw’abajaasi b’akulira abaakwata abakazi e Mubende ne babagoba ne mu Uganda bwe baali babagoba ku ttaka.
Ono yayitiddwa okunnyonnyola engeri gye yakwatamu ensonga y’abatuuze b’e Butologo e Mubende n’omujaasi Eric Kigambwoha gwe baali balumiriza okugoba abantu ku ttaka nga yeeyambisa abajaasi n’emmundu.
Nga June 17, 2014 abatuuze b’e Butologo nga bakulembeddwaamu kansala waabwe Christopher Balongo, baawandiikira Kibirango ne bamutegeeza nti Kigambwoha asaawa emmere yaabwe n’ayiwa omusanyu kw’agatta n’okumenya ennyumba zaabwe.
Baawunzika bamusaba agobe abajaasi ababatulugunya ku kyalo era abaggyeko n’emmundu.
BAAMUSOYEZZA EBIBUUZO
Looya w’akakiiko, Ebert Byenkya yabuuzizza Kibirango: Bwe wafuna ebbaluwa eno okuva mu batuuze wakolawo ki?
Kibirango: Natuuza olukiiko ne bajaasi bannange ne baleeta lipooti eyakolebwako ku mivuyo egiri ku ttaka lino ng’eraga nti abeebibanja abataagala kuva ku ttaka be bakola kkerere okulemesa bannannyini lyo okulikozesa.
Abatuuze nabawa amagezi nti bwe bwe baba balina bye bavunaana Kigambwoha, ensonga bazitwale mu kkooti kuba naffe twafuna ku kizibu ky’abatuuze abaali baagala okwesenza ku ttaka lya bbaalakisi.”
Byenkya yamuggyiddeyo etteeka erifuga amagye nga lirambika nti omujaasi taavumenga bantu b’abeera nabo, okutankuula entalo, okubba oba okukozesa olukujjukujju okubba ekintu ky’omutuuze oba okweyisa mu ngeri etekkirizibwa mu kitundu gy’abeera.
N’amutegeeza nti mu tteeka lino, omujaasi asiiwuuse empisa alina kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye oba okubonerezebwa mu ngeri endala yonna.
Byenkya yabuuziddwa lwaki Kigambwoha teyavunaanibwa mu kkooti, n’agamba: “Kirabika abajaasi be natuma ku kyalo okunoonyereza ebyaliwo bampubisa ne batangamba kituufu”
Baamulazze famire Kigambwoha gye yagoba ku kyalo ne yezza ennyumba yaabwe. Kuno baagasseeko obujulizi bw’abajaasi be abasobya ku bakazi, ekyamunakuwazza n’akwata ku ttama!
Yagambye nti: Oweekitiibwa, bino mpulidde bipya naye ngenda kukola lipoota ku bye mungambye, amateeka g’ekijaasi gakole ku Kigambwoha.
Kigambwoha naye yayitiddwa kyokka yasooka kuyitibwa ku Mande n’atalabikako ng’agamba nti puleesa erinnye.
Kyokka bwe yazze eggulo, ebiwandiiko by’eddwaliro bye yaleese byabadde biraga nti ssukaali y’amuluma!
Omulamuzi Catherine Bamugemereire yamubuuzizza lwaki alimba akakiiko.
Ebiwandiiko bye yaleese byalaze nti oluusi yeeyita Mutebi!
Bamugemereire yamulagidde akome awo, banaamuddira olulala.
Akakiiko leero kali Masaka n’ebitundu ebiriraanyeewo.