TOP

Abasomesa abasinga mu Uganda basiimiddwa

Added 5th October 2017

MINISITA w’ebyenjigiriza by’amatendekero aga waggulu mu ggwanga John Chrysostom Muyingo akubirizza abasomesa bulijjo okubaako ebintu eby’enjawulo bye bakola okukulaakulanya amasomeso gaabwe n’ebitundu mwe bakolera

Minisita JC Muyingo n'omusomesa anywedde mu banne akendo Geoffrey Owing okuva e Nakapiripirit

Minisita JC Muyingo n'omusomesa anywedde mu banne akendo Geoffrey Owing okuva e Nakapiripirit

Bya HERBERT MUSOKE

MINISITA w’ebyenjigiriza by’amatendekero aga waggulu mu ggwanga John Chrysostom Muyingo akubirizza abasomesa bulijjo okubaako ebintu eby’enjawulo bye bakola okukulaakulanya amasomeso gaabwe n’ebitundu mwe bakolera.

Omusomes Venny Lamunu Mukasa(owokubiri ku kkono) okuva Omoro ng'akwasibwa ceeke ne satifikeeti gyawangudde

 

Minisita Muyingo bono abituuseeko bw’abadde akwasa abasomesa abawangudde empaka z’okubaako engeri y’enjawulo gye basomesa abayizi baabwe wamu n’okuyamba ebitundu byabwe ez’enjawulo eziyitibwa “Teachers making a difference”,ez’omulundi ogw’okuna ezitegekebwa kkampuni ya Vision Group ku mukolo ogubadde ku kitebe kya kkampuni eno.

Omwogezi wa UNICEF Catherine Ntabadde ng'akwasa John Kyeswa satifikeeti emusiima

 

 Muyingo agambye nti abasomesa mpagi luwaga mu kukulaakulanya n’okuzimba eggwanga.

Abasomesa 12 beebalondwa kw’abo 620 abaayingizibwa mu mpaka zino nga bano buli omu aweereddwa akakadde kamu n’ekitundu ate abataano abasoose baakutwalibwa mu ggwanga lya Ireland okulambula nga bino byonna.

Akulira amawulire agafulumizibwa Vision Group omuli ne Bukedde, Barbra Kaija agambye nti nga bali wamu n’ebitongole ebissa ssente mu mpaka zino okuli; ekitebe kya Ireland mu Uganda, Trocare ne Simba TravelCare bagenda kwongera amaanyi mu mpaka zino okulaba nga banoonya abasomesa abaliko kye bakola okuyamba abayizi n’ebintu ebikozesebwa mu kusoma kyokka nga tebamanyiddwa. 

Omumyuka w'akulira Vision Group Gervase Ndyanabo ng'akwasa Emmanuel Angoda ebirabo

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono