TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM ebweru w'eggwanga bajaguzza olunaku lw'ameefuga

Aba NRM ebweru w'eggwanga bajaguzza olunaku lw'ameefuga

Added 10th October 2017

Aba NRM ebweru w'eggwanga bajaguzza olunaku lw'ameefuga

Aba NRN ebweru w'eggwanga nga bali ku cake eyagabuddwa ekitebe kya Uganda e Bungereza ku mikolo gy'emeefuga egyategekeddwa

Aba NRN ebweru w'eggwanga nga bali ku cake eyagabuddwa ekitebe kya Uganda e Bungereza ku mikolo gy'emeefuga egyategekeddwa

ABAWAGIZI ba NRM ababeera ebweru wa Uganda abakulemberwa Mw. Patrick Asiimwe bajaganyizza ameefuga ga Uganda aga 55 ku bubaga bwe baakoze mu mawanga ag’enjawulo gye bakolera.

BANNAYUGANDA abawagira NRM ababeera ebweru nga bali ku mikolo gy'emeefuga ga Uganda aga 55 agyabadde e Bushenyi ku Mande.

 Obubaga buno obwabaddewo ku Mande, e Misiri, South Africa, Turkey ne London.            “Tuyozaayoza Bannayuganda bannafe p;webyo bye batuuseeko mu myaka 55, era tubakubiriza okugenda mu maaso n’okukola ate n’okuwagira enkulaakulana etuukiddwako mu ggwanga”,  Mw. Asiimwe bwe yategeezezza mu bubaka bwe yaweerezza bannakibiina mu mawanga gye bali.

Abawagizi ba NRM e Misiri (Egypt) abaakulembeddwamu Ssentebe waabwe Jeniffer Nabisere (owokubiri ku kkono) nga bali ku mikolo ky'amefuga ga Uganda egya 55 mu kibuga Cairo.

Mw. Asiimwe yagambye nti  basanyufu nga bo abali ebweru bwe balaba emisinde Uganda kwekulaakulanira wansi w’obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni era nga baakugenda mu maaso n’okumuwagira mu kaweefube gwaliko ow’okuteeka Uganda ku maapu.

Omubaka wa Uganda mu Bungereza Julius Peter Moto (wakati) ng'ali ne Sentebe wa NRM ow'ekiseera Patrick Assimwe ku (ddyo) n'omwogezi Moses Kimuli ku (kkono) bwe babadde ku mukolo gw'okujaganya ameefuga ga Uganda aga 55 mu kibuga London.

Kwe kutegeeza nti wakugenda mu maaso n’entegeka ez’okulambula amatabi gaabwe mu mawanga ag’enjawulo omuli Misiri, South Africa n’amalala gye yatandikako gye buvuddeko.  

BANNAYUGANDA abawagira NRM e South Africa nga bali ku mikolo gy'amefuga ga Uganda gye baakwatidde mu kibuga Cape town. Asooka ku ddyo ye Ssentebe waabwe Dennis Kalema

Ate ye Omwogezi ow’ekiseera ow’ekibiina kino mu mawanga g’ebweru Mw. Moses Kimuli yagambye nti omulamwa mu kujaganya kuno kwabadde kwongera kwegatta, okuwagira enteekateeka z’okukulaakulanya Uganda nga basikiriza bamusiga nsimbi ate n’okutunda Uganda ebweru mu mawanga gye babeera.

Abakungu ba NRM mu mawanga g'ebweru nga bali ku bijaguzi by'amefuga mu kibuga London ekya Bungereza. Owokubiri ku (kkono) ye Ssentebe waabwe Mw. Patrick Asiimwe

N’agattako nti bagenda mu maaso n’entegeka y’okuwandiisa ba mmemba baabwe olw’okwetegekera okulonda bakulembeze baabwe abaggya okugenda okubeerawo mu mwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....