TOP

Odinga atadde Kenya ku bunkenke

Added 11th October 2017

Odinga atadde Kenya ku bunkenke

 Uhuru Kenyatta avuganya ne Odinga (ku ddyo).

Uhuru Kenyatta avuganya ne Odinga (ku ddyo).

RAILA Odinga abadde avuganya Uhuru Kenyatta mu kulonda okubadde okw’okuddamu e Kenya avudde mu lwokaano n’ateeka Kenya mu kattu. Buli muntu yeebuuza ekiddako kubanga akalulu kabadde kabuzaayo wiiki bbiri zokka kakubwe, ate nga mu lwokaano balimu babiri bokka ne munne Uhuru Kenyatta.

Akalulu kabadde kaakuddibwamu nga 26 omwezi guno, kyokka okuzira kwa Odinga kuleeseewo ebibuuzo ku kinaabeerawo ku lunaku olwo. Akalulu akaasooka kaakubwa nga August 8, 2017 kyokka Kkooti ey’oku Ntikko ekulirwa Ssaabalamuzi David Maraga ne basazaamu obuwanguzi obwo era ne balagira akalulu kaddibwemu mu nnaku 60 zokka. Odinga yamatiza kkooti ng’alaga obubbi obwali mu kalulu akaasooka naddala mu byuma bikalimagezi ebyakozesebwa mu kugatta obululu era n’amatiza abalamuzi 4 ku 6 ne basalawo kaddibwemu.

Buli muntu e Kenya omutima gumwewanise olw’ekiddirira nga kati olwokaano lw’okukaddamu lusigaddemu Kenyatta yekka kyokka Ssemateeka terina kirambulukufu ky’eyogera ku nsonga eyo.

Odinga eyalangiridde okuva mu lwokaano luno eggulo, yategeezezza nti akizudde ng’akakiiko k’ebyokulonda tekalina nkyukakyuka ze kakoze mu byonna bye yasaba okukagogola n’agamba nti okulonda tekugenda kubeera kwa bwenkanya. Yalagidde abawagizi be okwekalakaasa leero ku LwokusatuRAILA Odinga abadde avuganya Uhuru Kenyatta mu kulonda okubadde okw’okuddamu e Kenya avudde mu lwokaano n’ateeka Kenya mu kattu.

Buli muntu yeebuuza ekiddako kubanga akalulu kabadde kabuzaayo wiiki bbiri zokka kakubwe, ate nga mu lwokaano balimu babiri bokka ne munne Uhuru Kenyatta. Akalulu kabadde kaakuddibwamu nga 26 omwezi guno, kyokka okuzira kwa Odinga kuleeseewo ebibuuzo ku kinaabeerawo ku lunaku olwo.

Akalulu akaasooka kaakubwa nga August 8, 2017 kyokka Kkooti ey’oku Ntikko ekulirwa Ssaabalamuzi David Maraga ne basazaamu obuwanguzi obwo era ne balagira akalulu kaddibwemu mu nnaku 60 zokka.

Odinga yamatiza kkooti ng’alaga obubbi obwali mu kalulu akaasooka naddala mu byuma bikalimagezi ebyakozesebwa mu kugatta obululu era n’amatiza abalamuzi 4 ku 6 ne basalawo kaddibwemu. Buli muntu e Kenya omutima gumwewanise olw’ekiddirira nga kati olwokaano lw’okukaddamu lusigaddemu Kenyatta yekka kyokka Ssemateeka terina kirambulukufu ky’eyogera ku nsonga eyo.

Odinga eyalangiridde okuva mu lwokaano luno eggulo, yategeezezza nti akizudde ng’akakiiko k’ebyokulonda tekalina nkyukakyuka ze kakoze mu byonna bye yasaba okukagogola n’agamba nti okulonda tekugenda kubeera kwa bwenkanya. Yalagidde abawagizi be okwekalakaasa leero ku Lwokusatu nga bayimba ekintu kimu nti; “Bwe watabeera nkyukakyuka mu kakiiko ka byakulonda, okulonda tekuddibwamu”. Kenyatta yasinga Odinga obululu 1,400,000.

Ku lw’obulungi bw’ensi yonna, obw’amawanga agatuliraanye n’obulungi bwa Bannakenya bannange, nsazeewo okuva mu lwokaano luno olutali lwa mazima okutuusa ng’akakiiko keetereezezza. Yagasseeko nti okuvaamu kwe ayagala kuwe akakiiko obudde keetereeze kyokka tekimanyiddwa oba nga kagenda kubukozesa okwetereeza oba kagenda kulangirira Kenyatta oba kagenda kwongezaayo okulonda oba okutegeka okulonda okupya nga kayita abantu abalala abaagala okuvuganya. Odinga n’abamuwagira baagala akakiiko kasattululwe era ssentebe waako Wafula Chebukati ne banne bagobwe, ebifo biweebwe abantu abalala.

Oludda lwa Odinga lubadde lwemulugunya ne ku ffujjo era ennaku bbiri emabega, emmotoka yatomedde abawagizi baabwe abaabadde bayisa ebivvulu kyokka eyabadde agivuga bwe yagivuddemu n’akuba amasasi mu bbanga era n’adda mu baserikale ba poliisi n’abulira omwo.

Omwezi oguwedde, omuwaabi wa Gavumenti ya Kenya, Keriako Tobiko yasaba poliisi n’ebitongole ebirwanyisa enguzi, okunoonyereza oba waaliwo emivuyo omuli n’egyokukwata mu bululu mu kulonda okwasooka. Yagamba nti waliwo abakungu okuva mu kibiina ekiwakanya Gavumenti abaatigiinya kompyuta z’akakiiko k’ebyokulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....