TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri ebbaala gye yakuttemu omuliro n'esattiza abantu e Lweza

Engeri ebbaala gye yakuttemu omuliro n'esattiza abantu e Lweza

Added 12th October 2017

Engeri ebbaala gye yakuttemu omuliro n'esattiza abantu e Lweza

 Poliisi ng’ezikkiiza omuliro.

Poliisi ng’ezikkiiza omuliro.

OMULIRO gukutte bbaala ya Rios e Lweza ku luguudo lw’e Ntebe ebintu ebibalirirwa mu bukadde ne biggyiiramu.

Ebintu ebyayidde mulimu, kkuleeti za bbiya 2500, wayini, entebe n’ebyuma bya bbandi ebadde eyimbira mu kifo kino. Bbaala eno ebadde ebeeramu abayimbi nga Mathias Walukagga abadde ategeka kuyimbira mu kifo kino ku ntandikwa ya November era nga baabadde bamusasuddeko akakadde kalamba.

Nnannyini bbaala, Frank Muhanguzi yagambye nti kirabika waliwo omuntu ow’ettima eyayokeza ebbaala ye ng’omuliro gwasaasaanye ne gutuuka ne mu maka ge agali okumpi era ebintu byonna ne biggya.

Yagambye nti eyakikoze alabika yabadde ayagala kumukomya kuba newankubadde abantu baafubye okutaasa kyokka ebisinga byaggyiridde mu muliro.

Poliisi bwe yatuuse okuzikiza omuliro yasanze akaseera akazibu olw’abvavubuka abaabadde baagala okunyaga ebintu nga beefudde abayamba. Pussy Kisaakye yategeezezza nti omuliro gwandiba nga gwavudde ku baabadde bookya ebyuma newankubadde abamu bagamba nti amasannyalaze gaabadde gavuddeko.

Kisaakye yagambye nti bwe baakubidde emmotoka ya poliisi ezikiriza omuliro, yaluddewo okutuuka ng’oluvannyuma baabategeezezza nga bwe yabadde efiiridde mu kkubo.

Akulira poliisi y’e Kajjansi, Hillary Mukisa yategeezezza nti ekyavuddeko omuliro tebakimanyi nga bagezaako okukizuula n’awakanya bye bagamba nti tebaafuddeyo nga babakubidde essimu ekyavuddeko ebintu okuggya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...