TOP

Obulabe obuli mu kufumbira mu kaveera

Added 12th October 2017

Obulabe obuli mu kufumbira mu kaveera

 Omuwala atembeeya obutunda bw’abisseeko akaveera.

Omuwala atembeeya obutunda bw’abisseeko akaveera.

ABANTU bangi batuusa obulabe ku bulamu bw’abantu nga bakozesa obuveera mu kufumba awatali kulowooza ku bulabe buvaamu. Akaveera kalina obulabe bwe bumu ku bantu nga bwe kiri ku butonde bw’ensi.

Aisha Namutebi ow’e Lugala mufumbi wa mmere era agamba nti kituufu bakimanyi nti okufumbira mu buveera kya bulabe wabula tebalina kyakukola kuba n’abatunda endagala baziseera kati olulagala lumu lugula 300/- ate nga weetaaga nnyingi.

Kyokka ng’obuveera buli lw’obaako ne ky’ogula bakuwa olwo n’oyangurwa okufuna ky’ofumbamu nga tosasudde ssente ate ng’obukozesa enfunda eziwera ekitali ku ndagala. “Nze mbukozesa nnyo bwe mba sirina 300/- zigula ndagala oba bwe mba hhenze mu kyalo ndeetayo ku ndagala, bwe ziggwaawo ne nkozesa ku buveera. Abantu bagamba nti, bulwazakookolo wabula nange kino saagala kukifuna,” Namutebi bw’amaliriza.

Dr. Ludoviko Zirimenya, owa Hospice Uganda e Makindye yagambye nti ssinga omuntu afumbira mu kaveera ebintu byonna bye bakozesa okukakola bivaamu ne bigenda mu mmere.

Ebintu bino bitalaagirawo mu mubiri wadde obuzibu bubbulukuka luvannyuma. l Yannyonnyodde nti, ssinga omuntu amala ebbanga eddene ng’alya emmere efumbibwa mu kaveera oba ebikkibwako akaveera ebiragala ne langi ebittukukukira mu mmere eyo byekuhhaanya mpola mu mubiri n’ekivaamu kulwala. l Ssinga omubiri gufuna ekintu ekipya ekitali kyabulijjo, omubiri gusindika obutoffaali bwagwo okusobola okulwanyisa omulabe ono omupya aba azze.

Wabula ssinga obutoffaali bw’omubiri obuba bulwanyisa omulabe bukosebwa nnyo, ebitundu by’omubiri omuli olubuto, ensigo n’ebirala bikosebwa era kyangu okulwala kookolo ow’ekika kyonna olw’obutwa obuva mu kaveera.

Ate bw’aba mwana afuna embiro ez’amaanyi kuba emibiri gyabwe giba minafu bw’ogeraageranya n’egy’abakulu. l Engeri akaveera gye kakolebwa mu bintu ebitali bimu eby’obulabe nga ‘Chlorine’, ebirina olusu era akaveera bwe katuuka ku muliro, okusinziira ku bintu bye kakolebwamu ne mu mmere era olusu oluwulira. l Ebintu ebikozesebwa mu kukola obuveera nga ‘polyvinyl chloride’ bigenda mu mmere ekyongera obutwa mu mubiri.

l Emmere etegekebwa mu buveera ekendeeza ebiriisa ebibeera mu mmere ekivaako okulya emmere eteriimu biriisa ekirwaza omubiri ate mu baana bakonziba. Obutwa obusangibwa mu mmere efumbiddwa mu kaveera busobola okulemesa omuntu okukula obulungi kubanga bukosa ebitundu by’omubiri ebimu ng’obwongo, ekkundi, n’ebitundu ebirala ebigatta ku bitundu by’omubirieby’omugaso ekivaako omuntu okukula akasoobo.

l Olumu obutwa obungi obusangibwa mu buveera bwe bugenda mu mmere omuntu gy’alya buyinza okukendeeza ku baserikale abakuuma omubiri ne kivaako endwadde ng’ensigo n’ennyingo.

l Mu bakyala abali embuto, omwana akosebwa obutwa obuva mu buveera. Obutwa buno bwe bugenda mu nsawo omwana mw’akulira bukosa obwongo bw’omwana atannazaalibwa. Kino kimukosa ne bulamu bwe kuba n’okusoma kubeera kutono olw’obwongo obutakwata bulungi.

l Busobola okuvaako obulwadde bwa alusa n’endwadde z’olususu. l Oluusi bukosa abantu ne babeera nga tebawulira.

l Omuntu ayinza okufuna obuzibu bw’amaaso n’abeera nga talaba bulungi. l Buvaako olubuto okwesiba omuntu n’aba nga takyasobola kufuluma bulungi olw’ekyenda obutasobola kusalaasala biriibwa.

l Ekibumba okuba nga tekikyakola bulungi mulimu gwakyo olw’obutwa obungi obukisukkako nga buva mu buveera. Kiki ekyalemesa etteeka ly’obuveera okuko la? Ababaka abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi akakulirwa Alex Byarugaba kaagambye nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya National Environment Management

Authority kiremeddwa okuteeka mu nkola ekyasalibwawo okukomya okukozesa obuveera wadde ng’etteeka lyateekebwawo. Omubaka omulala, Richard Angura yagambye nti, obuveera bwe bunaawerwa Gavumenti ejja kusobola okusala amagezi okukubiriza abantu okulima ebirime ebivaamu ebikozesebwa mu kufumba naddala endagala.

Baabadde mu lutuula lw’akakiiko kano omwezi oguwedde ng’omubaka Syrus Aogon ow’e Kumi munisipalite abuuza ku kitongole kya NEMA wekyatuuka mu kuteeka mu nkola etteeka ly’obuveera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...