TOP

Bobi Wine aweereddwa ebiragiro ku kivvulu

Added 13th October 2017

BUKYA bbiici ya Bobi Wine eya One Love e Busaabala eggulwawo mu December wa 2009 temalangako kivvulu ku ssaawa 6:00 ez’ekiro era essaawa ezo Busaabala abeera atandika butandisi okutaba wabula poliisi egitaddeko akakwakkulizo ak’obutasussa ssaawa 6:00 ez’ekiro.

 Lwamusaayi akulira poliisi y’e Katwe ng’annyonnyola ku biragiro bye yawadde e Busaabala. Bobi Wine (ku ddyoi).

Lwamusaayi akulira poliisi y’e Katwe ng’annyonnyola ku biragiro bye yawadde e Busaabala. Bobi Wine (ku ddyoi).

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

BUKYA bbiici ya Bobi Wine eya One Love e Busaabala eggulwawo mu December wa 2009 temalangako kivvulu ku ssaawa 6:00 ez’ekiro era essaawa ezo Busaabala abeera atandika butandisi okutaba wabula poliisi egitaddeko akakwakkulizo ak’obutasussa ssaawa 6:00 ez’ekiro.

Obukwakkulizo ku kivvulu ky’e Busaabala buddiridde poliisi okuyimiriza ebivvulu bya Bobi Wine e Kamuli, Mbale kw’ossa enkuhhaana ze yabadde alina okubeeramu mu bukiikakkono ne Kasese.

Mu kivvulu kya Bobi Wine ekya Specioza ku Ssande, okuwera ssaawa 6:00 ebyuma byonna birina okuba nga bivuddeko abantu nga batandise okufuluma.

Olwa kkampeyini eziwakanya emyaka ezaakazibwako ‘Togikwatako’, Bobi Wine ng’amannya ge amatuufu ye Robert Kyagulanyi era omubaka wa Kyaddondo East z’azze yeetabamu n’okutambuza ebivvulu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’ayogererayo ebyobufuzi ng’ali ne bannabyabufuzi abalala, poliisi era egaanyi munnabyabufuzi yenna okwetaba mu kivvulu kino.

Kyokka yakkirizza Bobi Wine okubeerayo wadde naye munnabyabufuzi wabula naye n’emussaako akakwakkulizo akaamulumye ennyo.

Talina kwogera kintu kyonna kya byabufuzi okuggyako okuyimba enyimba ze adde e Magere.

Poliisi yamusuubizza okumuwa ebyokwerinda, ekifo kye n’abanaagendayo kyokka nga kino kitegeeza nti, tebajja kukkiriza banaayambala buwero bumyufu obulaga kkampeyini ya ‘Togikwatako’ abawakanya okukwata ku ssemateeka okukyusa ennyingo 102(b) okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti era poliisi ya kubeera ku mulyango.

Bannabyabufuzi n’abalimu olw’ebyobufuzi si baakuyingira ne Bobi Wine baamulagidde obutayimba nnyimba zirimu byabufuzi.

DPC wa poliisi y’e Katwe, Frantile Lwamusaayi ye yakulembedde olukiiko olwatudde ku bbiici eyo ku Lwokusatu ne lumuwa amateeka ago.

Poliisi yategeezezza nti ekivvulu ekyo kibadde kitegekeddwa n’ekigendererwa ky’okukunga abantu abawakanye eky’okuggyawo ekkomo ku myaka.

Mu kuyimiriza ekivvulu ky’e Kamuli, poliisi yayuzizza n’ebipande ebiranga Bobi Wine era ne bategeeza nti, kyabadde kitegekeddwa ng’abategesi tebagoberedde mateeka agafuga enkungaana (Public Order Management Act) ate bannabyabufuzi abawakanya ebbago ly’ekkomo ku myaka baabadde bategese okujja mu kivvulu ekyo bakunge abantu.

Ekivvulu ky’e Kamuli kibadde kyakubeerawo wiiki ejja nga October 20, kyokka Bobi Wine akyalemeddeko nti, waakugendayo kubanga baagoberera amateeka nga bakitegeka era alumiriza poliisi nti y’ekola ebitali mu mateeka ng’etimbula ebipande bye. Ekivvulu kibadde kirina kubeera mu kisaawe ky’e Kamuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’etwala Galabuzi (ku mpingu) ne mukyala we (ku ddyo) ku poliisi.

Babakutte kutulugunya mwana

ABATUUZE b’e Mbuya Kinnawattaka- Katoogo bavudde mu mbeera ne batabukira abafumbo abaludde nga batulugunya omwana...

Mugula ng’akutte amagi amafu ge baabakutte nago. Mu butono nabo baakwatiddwa.

Abagula amagi amafu ne bako...

POLIISI y’e Katwe ekutte abasajja bana abagambibwa okugula amagi amafu ne bakolamu keeki ze baguza abantu e Nateete....

Abazannyi ba Police nga bajaganya.

Police efunvubidde ku kikopo

Airtel Kitara 2-3 URA Police 3-1 Onduparaka UPDF 2-0 Mbarara City POLICE FC obusungu bw’okukubwa Vipers ebumalidde...

Derrick Kakooza, eyateeba ggoolo ey'obuwanguzi ku Mauritania.

Hippos erwanira World Cup

Leero mu Africa U-20 Cup of Nations (Quarter) Cameroon -Ghana,1:00 Burkina Faso - Hippos, 4:00 ez'ekiro ...

Dorothy Nambi ng’ayigiriza omwana alina obukosefu okulabirira ennimiro.

Kw'olabira omwana alina obu...

Alwawo okwogera. Tasobola kuyiga bintu bya bulijjo ng’okuseka, okuba n’emikwano. lAtya nnyo naddala abantu abatali...