TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amerika egyeeyo emmeeri lubbira okwetegekera North Korea

Amerika egyeeyo emmeeri lubbira okwetegekera North Korea

Added 13th October 2017

AMERIKA eyongedde okwetegekera olutalo ne North Korea bw’esitudde emmeeri yaayo lubbira ey’ebyokulwanyisa ebya nukiriya n’egitwala mu kitundu kya Korea Peninsula.

 Ekika ky’emmeeri ya USS Michigan Amerika gye yasindise mu lutalo.

Ekika ky’emmeeri ya USS Michigan Amerika gye yasindise mu lutalo.

SEOUL, SOUTH KOREA

AMERIKA eyongedde okwetegekera olutalo ne North Korea bw’esitudde emmeeri yaayo lubbira ey’ebyokulwanyisa ebya nukiriya n’egitwala mu kitundu kya Korea Peninsula.

Emmeeri eno eyitibwa USS Michigan ewangiddwaako mizayiro 154 ez’ekika kya ‘Cruise missiles’ nga kuliko n’egimu egiriko bbomu za nukiriya.

Buli emu ku mizayiro 154 eziri ku mmeeri lubbira USS Michigan, esobola okukuba mu buwanvu bwa mayiro 900 ng’erina amaanyi ga buzito bwa kiro 500.

Ekitebe kya Amerika eky’ebyokwerinda ‘Pentagon’ kitegeezezza nti buli emu ku mizayiro ezo 154 erina akuuma aka Ssabbaawa akagiyamba okugiragirira n’okugituusa ku nfo y’omulabe yennyinnyi n’egisaanyawo nga tekubye bbali.

Pulezidenti Trump ye yawadde ekiragiro eky’emmeeri eno ekozesa amasannyalaze aga nukiriya okusindikibwa mu Korea, Peninsula okwetegekera olutalo oluyinza okubalukawo ekiseera kyonna.

Emmeeri lubbira eno yeegasse ku emmeeri ennwaanyi ne zi lubbira ekiyitibwa Armada, okuli: emmeeri ez’omulembe ne tekinologiya omupya okuli: USS Carl Vinson, Nimitz- Class Aircraft Supercarrier, emmeeri obwaguuga bbiri eziyitibwa “Guidedmissile Destroyers ne ‘Guided-missile Cruiser ne Lubbira eyitibwa USS Michigan ng’eno eteereddwaamu mizayiro 164 eza nukiriya eziyitibwa Tomahawks.

Ku mmeeri zino ne zi lubbira, Amerika kw’egasse ebyokulwanyisa eby’omutawaana naddala ennyonyi ennwaanyi eza tekinologiya omupya okuli; F-15 Eagle,F-15E Strike Eagle, A-10 Thunderbolt II, B-1 Lancer, B-52H Stratofortress, B-2 Spirit nga zigumbye mu kitundu ekya Korea peninsula ne kizinga ky’e Guam.

TWETEGESE- NORTH KOREA

North Korea etegeezezza nti Amerika by’ekola kati tekuli kipya nga beetegese okugyahhanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....