TOP

Bayungudde abaserikale 1,650 okukuuma ebigezo

Added 14th October 2017

EKITONGOLE kya UNEB kisindise abaserikale n’abalondoola ebigezo by’omwaka guno 1,650 okwetooloola eggwanga lyonna okukakasa nga tewali n’omu yeenyigira mu kubba bigezo ebyatandise eggulo ku Lwokutaano.

 Abayizi nga bakola ebigezo

Abayizi nga bakola ebigezo

Bya HERBERT MUSOKE
EKITONGOLE kya UNEB kisindise abaserikale n’abalondoola ebigezo by’omwaka guno 1,650 okwetooloola eggwanga lyonna okukakasa nga tewali n’omu yeenyigira mu kubba bigezo ebyatandise eggulo ku Lwokutaano.


Dan Nokrach Odongo, omuwandiisi wa UNEB agamba nti baakwataganye ne poliisi n’ebawa abaserikale abagenda okubeera mu yunifoomu ne leeya okulondoola ebifo byonna omukolerwa ebigezo obutabeerawo bubbi bwonna.


“Tulabula abazadde, abayizi, abakulu b’amasomero n’abasomesa obuteetantala kubba bigezo kuba tulina abaserikale abamala okuketta n’okukwata omuntu yenna aneenyigira mu kubba ebigezo. Nga bulijjo omuntu yenna anaakwatibwa mu kubba ebigezo tujja kumusazaamu”, Odongo bw’agamba.


Ebigezo bya O-Level (S4), byatandise ku Lwokutaano nga October, 13 n’okubuulirira abayizi ku masomero gonna olwo ku Mmande nga October, 16 batandike okutuuka nga November, 20.

Dan Odongo akulira UNEB

 


“Abakulu b’amasomero temulina kulekera basomesa mulimu gwa kubuulirira bayizi kuba babeetaaga. Mu ngeri y’emu n’abazadde abasobola mwandibadde mwenyigira mu kubuulirira abayizi bammwe kuba waliwo ensobi ze bakola olw’obutababuulirira bulungi”, Odongo bw’agamba.


Abayizi 326,149 be bagenda okukola ebigezi bya UCE, nga ku bano 165,397 balenzi ate 160,752 bawala. Abayizi 151,894 bava mu masomero ga gavumenti (USE) ate 174,255 bavudde mu masomero ga bwannannyini. Bonna bavudde mu masomero 3,568 ate ng’abayizi ku mitendera gyonna okuli P7, S4 ne S6 bali 1,073,715 omwaka guno.


ACP Godfrey Maate akola n’ekitongole kya UNEB agamba nti, poliisi ekwatagana bulungi n’ekitongole ky’ebigezo era nga bagenda kukuuma ebigezo okuviira ddala ku kitebe kya UNEB okutuuka mu bifo we bikolerwa n’okuzza empapula z’abayizi ze bawandiiseeko.


“Tugenda kukakasa nga tewabeera kubba kwa bigezo kwonna era tulabula abazadde, abasomesa n’abayizi okwewala abafere abagenda okutandika okubategeeza nga bwe balina empapula z’ebigezo ate nga balimba ekigenda okubafiiriza”, ACP Maate bw’agamba.


Era agumizza amasomero mu masoso g’omu byalo omuli n’ebizinga nti, bagenda kuwaayo ebikozesebwa bya poliisi omuli mmotoka, pikipiki n’ennyonyi (namunkanga) za poliisi okuyamba mu kutambuza empapula z’ebigezo okubituusa mu bifo ebiyinza okukaluba okutuukamu.


Odongo atangaazizza ku bibadde bitambuzibwa nti UNEB yakyuusa obubonero kw’egabira makisi ng’okugaba D1 omuyizi alina kufuna 90 ku 100 ate afunye wansi wa 50 ku 100 abeera agudde n’agamba nti UNEB egenda kusigala ng’ekozesa enkola enkadde gy’ebadde egoberera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...