TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri amagye gye gaalemesezza poliisi okununula omukazi alina ky'amanyi kuttibwa kw'omugenzi Felix Kaweesi

Engeri amagye gye gaalemesezza poliisi okununula omukazi alina ky'amanyi kuttibwa kw'omugenzi Felix Kaweesi

Added 15th October 2017

Amagye galemesezza poliisi okununula omukazi

 Mbabazi gwe baasibira awaka.

Mbabazi gwe baasibira awaka.

POLIISI n’amagye katono bakubaganire amasasi mu maka g’omukazi Christine Mbabazi e Lungujja, ng’ono awezezza omwezi mulamba n’okusoba g’asibiddwa awaka takkirizibwa kufuluma.

Akulira ekitongole kya ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka ye yasibira Mbabazi awaka ng’agamba nti yakikola lwa kutaasa bulamu bwe kuba waliwo abantu abaagala okumutta olw’okuba alina kikene ky’amanyi ku kuttibwa kw’omugenzi Felix Kaweesi.

Ku Lwokuna waabaddewo obunkenke mu maka ga Mbabazi, abaserikale ba poliisi n’abeekitongole kya Flying Squad bwe baazinze amaka ga Mbabazi okugezaako okumununula, kyokka abaserikale ba UPDF abawera 10 abali munda mu kikomera abakuuma Mbabazi, ne bakookinga emmundu.

Poliisi n’aba Flying Squad baasinzidde ebweru w’ekikomera ne balagira abaamagye abali mu nda baggule geeti mu mirembe kyokka aba UPDF abali munda ne bategeeza nti ekiragiro kye balina butakkiriza muntu yenna kuyingira mu geeti era singa wabaawo agezaako okukozesa ekifuba okuyingira bajja kumukuba amasasi.

Abatuuze abeetooloddewo baabadde ku bunkenke okumala ekiseera era abaserikale abaabadde ebweru wa geeti baalabiddwa nga bakuba amasimu ag’okumukumu. Ekyaddiridde baagumbulukuse omulundi gumu ne bagenda nga Mbabazi abalemye okununula.

Col. Kaka agamba nti ebya Mbambazi babimanyi bulungi naye waliwo abantu abaagala okumutta babuze obujulizi obw’omugaso ennyo bw’alina mu musango gw’okutta omugenzi Kaweesi noolwekyo okumusibira awaka bagenderera kumutaasa ku balabe.

Poliisi ng’etuuka ku maka ga Mbabazi, amagye mwe gamukuumira.

 

MBABAZI ANNYONNYOLA Ku lunaku lwe baatandika okunsibira awaka, Col. Kaka yankubira essimu n’antegeeza nti yali ayagala kunsisinkana twogere. Yandagira musisinkane ku wooteeri eyitibwa Tal Cottages e Lubaga era bwe natuukayo namusanga yatuuseewo dda.

Kaka okumusisinkana nali mumanyi bulungi era twayingira mu kasenge akamu n’antegeeza nti be yali ampitidde byekuusa ku kuttibwa kwa mugenzi Kaweesi era nti nnina kye mbimanyiko. Waayita akaseera katono n’atumya omuvubuka gwe simanyi ne bamuleeta ng’ali ku mpingu.

Ono bwe yatuuka mu maaso gaffe nategeezebwa nti ye yavuga abatemu abatta Kaweesi era yannumiriza nga bw’ammanyi nti era yansisinkana mu lukiiko lwe twalimu ku Kati Kati e Lugogo mu kiro ekyakeesa olunaku okwattirwa Kaweesi. Nti era mu lukiiko olwo mwalimu n’abamu ku baserikale (amannya gasirikiddwa).

Bino byonna nabyegaana kuba nali sibimanyi era ekyaddirira kunziza waka olwo nga ndi musibe atakkirizibwa kufuluma maka gange n’okutuusa kati. Embeera gye ndimu mbi kuba sikyakola, sirina buyambi bwonna ate nga nnina abaana bange abasoma be nnina okulabirira.

Mu kiseera kino njulirira waakiri ntwalibwe mu kkooti nvunaanibwe mu butongole oba kituufu neetaba mu kutta Kaweesi, bansalire ekibonerezo.

SIBANGAKO MUGANZI WA KAWEESI

Ekituufu Kaweesi yali mukwano gwange nnyo, era yannyambanga mu bintu bingi naye eby’okufa kwe sibimanyi era si kituufu nti nali muganzi we nga bwe kinsibwako abantu abannumiriza.

MBABAZI Y’ANI

Omukyala ono musuubuzi, nga yazaalibwa mu kitundu ekiyitibwa Bunagana e KIsolo. l Kitaawe ye Ronald Ruzindana. l Agamba nti bba yafa emyaka 15 egiyise n’amulekera abaana b’akyaweerera n’okutuusa leero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...