TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasibwa ne Sheikh Kamoga alondeddwa Abatabbuliiki

Eyasibwa ne Sheikh Kamoga alondeddwa Abatabbuliiki

Added 15th October 2017

Eyasibwa ne Sheikh Kamoga alondeddwa Abatabbuliiki

 Rashid Jingo (ku ddyo) ne Sheikh Kamoga ali mu kkomera e Luzira.

Rashid Jingo (ku ddyo) ne Sheikh Kamoga ali mu kkomera e Luzira.

EYALI asibiddwa e Luzira ne Sheikh Muhammad Yunusu Kamoga ku misango gy'obutemu alondeddwa ku lukiiko olupya okuddukanya Omuzigiti gwa William (Masijid Noor) okukulira akakiiko k'ebyensimbi. Rashid Jingo omu ku bejjeerezebwa emisango egyali gibavunaanibwa ne Sheikh Kamoga, yalondeddwa mu kifo kino, oluvannyuma lw'obukulembeze obubaddeko ekisanja kyabwo okuggwaako.

Akola nga omukulembeze w'Abatabbuliiki mu ggwanga Sheikh Mu'Allim Haroona Kasujja yategeezezza nti, yavudde ku nkola ey'okuleeta erinnya ly'agenda okubeera omukulembeze Abasiraaamu ne bamukubako akalulu nti, ekyo eddiini tekikkiriza.

Yategeezezza nti, yasazeewo okugoberera enkola ekkirizibwa mu ddiini nga ye ng'omukulembeze ow'oku ntikko y'alina okutuula n'alonda abantu b'alaba nti, be basaanidde okukulembera n'abanjulira Abasiraamu era Rashid Jingo yayitiddewo mu nkola eno.

Ye Sheikh Salim Bbosa akulira akakiiko akaanukula ebibuuzo ku Muzigiti guno yagambye, nti, enkola ey'okuleeta erinnya ne balikubako akalulu, nkyamu. Yasabye Emizigiti gyonna gigoberere enkola eyagobereddwa nga balaga bulazi Abasiraamu abakulembeze baabwe.

Ate Sheikh Mirad Karuuma yategeezezza abaalondeddwa nti, oyo yenna abeera mu bukulembeze n’afa ng'alina ky'abbye Jana emusubye. Abalala abaalagiddwa Abasiraamu kuliko; Sheikh Hassaan Nyanzi ye Imama era Amiir w'Omuzigiti, Ibrahim Ssentongo ye muwandiisi, Hajji Ibrahim Ssekajja ye mwogezi, Hajji Ausi Ogwanga ne Habibu Zaid Ssentongo byakwerinda. Umar Sa-eed Kakooza mwaziinyi, Hajji Ausi Lule ne Juma Lubega bammemba.

Abaalondeddwa beeyamye okukolagana obulungi n’olukiiko olubaddeko na buli Musiraamu yenna nga babawuliriza. Sheikh Kasujja yasabye abali ku kakiiko okweyisa obulungi n’ekigendererwa ky’okuweereza Obusiraamu era babe ba mazima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu