TOP

Museveni azzeemu okulumba Bobi Wine

Added 18th October 2017

PULEZIDENTI Museveni alabudde abatiisaatissa bannaabwe ku by’okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okukikomya oba ssi ekyo bajja kulaba akamufaamu.

 Pulezidenti Museveni n'abamu ku babaka ba Palamenti e Namutumba.

Pulezidenti Museveni n'abamu ku babaka ba Palamenti e Namutumba.

Bya AHMED MUKIIBI

PULEZIDENTI Museveni alabudde abatiisaatissa bannaabwe ku by’okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okukikomya oba ssi ekyo bajja kulaba akamufaamu.

Era asomoozezza Bobi Wine ayanjule enteekateeka z’alina okuggya abavubuka mu bwavu ave mu kwogera obwogezi.

Ng’ali e Busoga ku Mmande, Mw. Museveni yawabudde nti ensonga ez’ennoongosereza mu Konsitityusoni ziteekwa okukubaganyizibwako ebirowoozo mu bukkakkamu nga tewali avuma oba okutiisatiisa munne.

“Ennoongosereza mu nnyingo 102 (b) eya Konsitityusoni eteekwa okuteesebwako mu bukkakkamu, mu mirembe awatali muntu yenna kuvuma oba okutiisatiisa omulala”, Pulezidenti bwe yagambye.

N’agattako nti buli alina ensonga ye, wa ddembe okugissa mu ddiiro n’ekubaganyizibwako ebirowoozo sso ssi kuvuma oba okutiisatiisa.

“Njagala okulabula oyo yenna atiisatiisa abalala oba alowooza nti, asobola okutabangula emirembe NRM gye yaleeta nti awo yeerimba kubanga ekyo tekijja kusoboka.

Gavumenti eno ky’eriko ekitegeera era ekitegeeza”, bwe yagambye ng’asinziira ku ttendekero lya Kisiki College e Namutumba ku mikolo egy'okujaguza obuwanguzi bwa Mariam Naigaga eyaakalondebwa ng’omubaka omukazi owa disitulikiti eno (Namutumba) ekyali empya.

Ku mukolo guno, Pulezidenti Museveni kwe yatongorezza ebibiina kkumi eby’essomero, ekizimbe eky’ebitabo n’okusimba ejjinja awagenda okuzimbibwa ekisenge ky’enkiiko ne yeeyama okuwaayo obukadde 100 ku mulimu guno.

Yannyonnyodde nti emirembe Bannayuganda gye beenyumirizaamu kati, NRM yagirwanirira era nneetegefu okugikuuma obutiribiri obutazannyirwako muntu yenna n’agamba nti kikafuuwe omuntu yenna okutabangula Uganda.

Pulezidenti okuvaayo kiddiridde ebikolwa by’okutiisatiisa n’okukola effujjo ku bamu ku bawagira okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu Konsitityusoni. Yagambye nti ekyo kiteekwa okukoma kubanga NRM yaleeta eddembe buli muntu okwogera awatali amukuba ku mukono.

Nga tannagenda Namutumba, Pulezidenti yasoose Iganga ku kyalo Mulanga mu ggombolola y’e Ibulanku n’atongoza ekkolero lya Ngemeraku Investment Factory erikola amazzi g’okunywa n’okusogola omubisi mu bibala nga likozesa abantu abasuka mu 130.

Omukolo gwetabiddwaako Nampala wa Gavumenti Ruth Nankabirwa n’ebikonge bya NRM okwabadde n’omubaka Brenda Asinde Suubi eyaakalondebwa okukiikirira disitulikiti y’e Igannga mu Palamenti ng’adda mu kifo kya Grace Hailat Kaudha Magumba eyafa mu July 2017.

MUSEVENI ALUMBYE BOBI WINE
Pulezidenti yasoomoozezza abooludda oluvuganya era yanokoddeyo omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyangulanyi - Bobi Wine okuyamba abantu okweggya mu bwavu mu kifo ky’okutalaaga amawanga ageebweru.

Yagambye nti ababaka abooludda oluvuganya bamala ebiseera bingi ku hhendo mu mawanga ageebweru mu kifo ky’okudda mu bantu be bakiikirira okubayamba okweggya mu bwavu.

Yagambye nti NRM, yamala dda okufuna enteekateeka ezigenda okuyamba abantu okweggya mu bwavu n’asomooza Bobi Wine nti bw’aba alinayo enteekateeka ey’okuyamba abantu okweggya mu bwavu agyanjule.

NRM erwanyisa obwavu ng’eyita mu nteekateeka ya Bonna Bagaggawale eya 'Operation Wealth Creation' gattako ensawo y’abavubuka eya 'Youth Livelihood Programme' ey’abakyala eya 'Women Fund' ne 'Innovation Funds'.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...