
Abamu ku batuuze b'e Baamunaanika nga bawanise emikono okuwagira okuggya ekomo ku myaka.
Dr. Muyingo yabadde atalaaga ebitundu eby’enjawulo nga yeebuuza ku batuuze mu ssaza lino we bayimiridde ku ky’okukyusa mu kawaayiro akaggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.
Abatuuze baategeezezza nti, waliwo ebintu Museveni bye yasuubiza ab’e Luweero okuli; enguudo n'ebirala ebitannaba kukolebwa.
Dr. Muyingo yagambye nti akkiriziganya nabo okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kubanga ekituufu kiri nti Pulezidenti Museveni agezeseddwa ne kizuulwa nti, asobola era alina bingi by'akoledde eggwanga.
Yagambye nti obubaka bwe baamutisse ajja kubutwala mu Palamenti era akole nga bwe baamutumye.
Ku bisuubizo ebitannatuukirizibwa, Dr. Muyingo yagambye nti enguudo z’e Bamunaanika Gavumenti ezimanyi naye assira kati ekyalitadde ku nguudo eziyita mu bitundu omusimwa amafuta n’oluvannyuma edde awalala.
Dr. Muyingo yayogedde ne ku by’okulonda kwa LC okubindabinda n’alabula abantu obutalonda abo abazze beenyigira mu mivuyo gy’okubba ettaka.
Yagambye nti ayagala abeesimbyewo aba NRM bakukumbe obululu bwonna ku byalo byonna.
Yasabye abo abaagala ebifo ku kaadi ya NRM nga bamanyi nti, balina enziro obutatawaana bajja kukuba NRM ekigwo.