TOP

Owa Korea atutte bagenero

Added 19th October 2017

Okwegezaamu kwa Amerika okugenda mu maaso, kwe kukyasinze okubeera okw’omuggundu nga Pulezidenti Trump yeetegekera okulwana ne North Korea, olutalo abamu ku batunuulizi b’ebyobufuzi n’Ebyokwerinda lwe balabudde nti ye ‘Ssematalo owookusatu’ kubanga lugenda kusaasaanira ssemazinga zonna.

 Abajaasi ba Amerika be baasoose okwegezaamu.

Abajaasi ba Amerika be baasoose okwegezaamu.

PYONGYANG, North Korea

WAKATI mu kududuma kwa bbomu n’okubwatuka kw’emizinga ne mizayiro za Amerika ne South Korea ezigezesa ebyokulwanyisa byazo mu Korean Peninsula, Pulezidenti wa North Korea Kim Jong-Un asitudde bagenero be n’abalambuza enfo ezigenda okubeera ez’enkizo mu lutalo olubindabinda.

Kim Jong-Un 33, yayolesezza obuvumu ne sitamina olw’engeri gye yasambye ensiko nga bagenero be bamuvaako emabega n’atuuka ne waggulu ku lumu ku nsozi ennene n’asitamako ku katunnumba n’alabika ng’atangaaza omulabe olwo bagenero be ne bamukubira engalo.

Bagenero abaamubadde ku lusegere ye; Ri Pyong Chol, Choe Yong-un, Kim Chaek, Kim Jong-un, Ri Yong-gil, Yun Jong-rin, Kim Kyok-sik, No Kwan-chol, Kim Kyong-hui, Kim Rak-gyom, Kim Ung, Paek Sang-ho, Pak Yong-sik, Hwang Pyong-so, Hyon Chol-hae , Hyon Yong-chol n’abalala.

Kim Jong Un ng’akulembeddemu bagenero be okugenda mu nfo mwe bagenda okusinziira okulwana.

 

Enfo Kim Jong-Un gye yalambuzza bagenero eri mu kifo ekiyitibwa Wonsan okumpi n’omwalo ogutunudde mu guyanja Sea of Japan era wano abayambi be we baamuweeredde ebifaananyi ebikwatiddwa ekyuma kya North Korea ekitangaaza mu bwengula n’ebunaayira ekya Satellite eyitibwa Kwangmyongsong- 4 (KMS-4).

Olupapula lw’amawulire olwa gavumenti oluyitibwa Rodong Sinmun lwategeezezza nti ebifaananyi ebyakwatiddwa Satellite za North Korea byalaze buli kimu ekiri mu kwegezaamu kwa Amerika ne South Korea.

Amerika ne South Korea zaatandise ku Mmande okwegezaamu okw’amaanyi nga Amerika yasitudde emmeeri 40, ennyonnyi ennwaanyi ezisukka 150, n’emmundu eza buli kika wamu n’ebibinja by’abajaasi abalwanira ku ttaka, ku mazzi ne mu bbanga.

Kim Jong-Un yagambye nti okusinziira ku bifaananyi bya Satellite ebyakubiddwa mu kwegezaamu kwa Amerika ne South Korea, omutima gumuli wamu nti olutalo bwe lubalukawo, North Korea ejja kululinnyako.

Nga bw’atera okukola, Kim Jong-Un yakutte ne mu mbinabina n’amwenya ng’atunudde mu bifaananyi ebyalaze emmeeri za Amerika ez’ebika ebyenjawulo nga ziri wamu n’akontola nti, ate awo Amerika ebeera emwanguyirizza omulimu kubanga mizayiro emu yokka eyitibwa Hwasong-12 ey’ekika kya Inter Continental ballistic Missile (ICBM) emala okuziyitamu zonna ne zikoleera omuliro nga tezinnavaamu wadde omuzinga ogumu!

Okwegezaamu kwa Amerika okugenda mu maaso, kwe kukyasinze okubeera okw’omuggundu nga Pulezidenti Trump yeetegekera okulwana ne North Korea, olutalo abamu ku batunuulizi b’ebyobufuzi n’Ebyokwerinda lwe balabudde nti ye ‘Ssematalo owookusatu’ kubanga lugenda kusaasaanira ssemazinga zonna.

Kim Jong-Un yategeezezza bagenero be nti mumativu n’enteekateeka zonna ezikoleddwa mu bifo ebyenjawulo by’alambudde era yavudde e Wonsan ng’awadde bagenero be ebiragiro ku bintu bye battaanya bamuwe lipoota mu ssaawa 24.

GWE OSINGA: Abaserikale ba North Korea nga bawera mu maaso ga Pulezidenti Kim Jong Un.

 

Ekifo ekya Wonsan, Amerika egamba nti kye kimu, North Korea mw’ekukulidde mizayiro ez’obulabe omuli ne bbomu nnamuzisa eza Nukiriya. Wonsan kitunudde mu Sea of Japan nga North Korea esobola okusinziirawo okukuba bbomu mu Japan ne mu Amerika.

Ebifo ebirala Kim Jong-Un bye yalambudde kuliko; Toejo-dong, Mayangndo, Choho, Changjon Singye , Songwoni nga bino bye bimu ku bifo eby’enkizo North Korea by’eteeseteese okulwaniramu.

Ebimu ku bifo ebyo biri ku nsalo ne South Korea, ebirala ku lubalama lw’oguyanja Sea of Japan ng’eri ku ludda olwa Amerika ne North Korea. Bwe yavudde mu kulambuza bagenero, Kim Jong-Un yazze mu kibuga Pyongyang n’atuuza olukiiko lw’amagye olw’oku ntikko n’akisimbako amannyo nti takyetaaga nteeseganya na Amerika oba ekibiina ky’amawanga amagatte ku nsonga yonna.

Yagambye nti North Korea egenda kwongera ensimbi mu pulojeketi ez’okuyiiya, okuweesa n’okunoonyereza ku byokulwanyisa ebya tekinologiya ne Ssaayansi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...