
Mbabazi lwe yakungubagira Kaweesi.
Bya MUSASI WAFFE
CHRISTINE Mbabazi 38, ayongedde okwanika abakungu ba poliisi wamu n’abali mu kitongole ekikessi ekya ISO ku ngeri gye bakoonaganira mu mirimu gy’ebyokwerinda.
Ayongedde n’okukuba ebituli mu ngeri poliisi, ISO n’ebitongole by’ebyokwerinda ebirala gye bizze bikwatamu okunoonyereza ku batta Andrew Felix Kaweesi.
Ensonga z’omukazi ono kati zikolwako ofiisi ya Pulezidenti era baamuweerezza eggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC) lye liba limukuuma ne ligumbululawo abajaasi abaabadde bateekeddwaawo ISO eduumirwa Col. Frank Kaka Bagyenda.
Christine Muhoza Mbabazi ayogerwako nga muninkini wa Kaweesi era mu kukungubaga yeeziribanga ng’anyolwa olw’okufiirwa omuntu ow’omunda ddala. Ku Lutikko e Lubaga nga March 20, 2017 Mbabazi y’omu ku baasimba ennyiriri okukuba eriiso evvannyuma ku mugenzi.
Bwe yatuuka ku mulambo, yasitula ekibatu kye eky’omukono ogwa ddyo n’akiwummuza mu kyenyi kya Kaweesi nga bw’amusiibula. Ebyo yabikola amaziga gamuyitamu.
Mbabazi wadde agamba nti musuubuzi wa muceere mu Kisenyi; kigambibwa nti amanyi abanene bangi mu byokwerinda era abaserikale ab’amadaala aga wansi abamu baludde nga bamwekengera.
Bamwogerako ng’omukazi atali mwangu gwe bateebereza nti abaggyamu ebyama n’abitwalira abanene.
Mbabazi mu kwogera ne Bukedde yalaze okutya ku ngeri Col. Kaka gy’akuttemu ensonga z’abatta Kaweesi era n’akimussaako nti, yatuuse n’okumukaka (Mbabazi) alumirize omukungu ow’amaanyi mu poliisi nti yawa omukazi ono obukadde 200 ayambeko mu lukwe lw’okutta Kaweesi.
Anokolayo n’abanene abalala musanvu mu poliisi b’agamba nti Col. Kaka yamussa ku nninga ng’ayagala abalumirize nti nabo baali mu lukwe olwatta Kaweesi.
Okukoonagana mu bitongole by’ebyokwerinda kwasooka kweyoleka mu May 2017, eyali munnamagye Lt. Godfrey Galabuzi Musisi (eyali akwatiddwa ku by’okutta Kaweesi kyokka ne bamuyimbula nga tagguddwaako musango) bwe yatwala omusango mu kkooti ng’avunaana abapoliisi okumutulugunya nga bamugamba alumirize Minisita w’obutebenkevu Lt. Gen. Henry Tumukunde nti yamuwa akawumbi kalamba okukola olukwe olwatta Kaweesi.
Obutemu buno bwaliwo nga March 17, 2017 e Kulambiro mu Kampala emisanattuku era abatta Kaweesi baakuba amasasi agasukka mu 80. Lt. Gen. Tumukunde y’alondoola emirimu egikolebwa ISO ate Poliisi egwa mu Minisitule y’ensonga z’omunda. Tumukunde aludde ng’alaga ebitatambula bulungi mu poliisi era ng’alaga n’ebirina okukolebwa okuziba emiwaatwa.
Mbabazi abadde yaakagula amaka e Lungujja era aba ISO (Internal Security Organization) baamutadde ku nninga nga balumiriza nti ssente ze yakozesezza okugula amaka gano ze zimu kw’ezo ze yaggya mu lukwe lwe yaluka okutta Kaweesi n’endala ezaamuweereddwa ng’akasiimo oluvannyuma lwa ‘misoni’ okutuukirira. Wabula bino byonna abyegaana.
Col. Kaka yategeezezza Bukedde nti okukuumira Mbabazi mu nnyumba baakikoze oluvannyuma lw’okuzuula nti alina bingi by’amanyi ku baatemula Kaweesi era nga yeetaaga n’obukuumi kubanga waliwo abaagala okumutta basaanyeewo obujulizi