TOP

Bawambye omuntu e Kiboga ne bamutta

Added 19th October 2017

ABAZIGU bawambye omukozi w’oku ddipo etunda sooda ne bbiya e Kiboga ne bamubako obukadde mwenda n’oluvannyuma ne bamutta.

 Ssaazi eyattiddwa ne mukyala we n’omwana waabwe.

Ssaazi eyattiddwa ne mukyala we n’omwana waabwe.

Bya MOSES LEMISA

ABAZIGU bawambye omukozi w’oku ddipo etunda sooda ne bbiya e Kiboga ne bamubako obukadde mwenda n’oluvannyuma ne bamutta.

Paul Ssaazi 24, abadde akolera kkampuni ya Ntale and Sons Ltd. e Kiboga abatemu abaamusse baamusanze ava kuggya ssente ku ttabi lyabwe e Bukomero ne bamutuga.

Edward Arinaitwe 35, maneja wa ddipo za Ntale and Sons Ltd. yagambye nti Ssaazi y’abadde avunaanyizibwa ku kukungaanya ssente okuva ku ddipo y’e Busunju, Kakiri ne Bukomero.

Yagambye nti ku Mmande yamutumye ssente ku dipo y’e Bukomero nga yasimbudde ku makya era ssente n’azifuna ku ssaawa 7:00 ez’omu ttuntu, kyokka baamulinze nga tebamulaba ne bakuba essimu ye nga teyitamu.

Yagasseeko nti yazzeemu n’akuba essimu ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo nga teriiko ne bakuba gye yabadde aggye ssente n’abategeeza nti yazimuwadde.

Arinaitwe yagambye nti baagenze ku poliisi y’e Kiboga ne bagitegeeza ku kubula kw’omukozi waabwe ne bassa n’ebirango ku mikutu gy’amawulire gyonna.

Bazuula omulambo Ku ssaawa 8:00 ez’emisana baafunye amawulire okuva ku mutuuze w’e Matte nti waliwo omulambo gw’omuvubuka gwe baasanze mu kitundu kyabwe ne bategeeza poliisi eyaguggyeewo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaaliro ly’e Mityana.

Yagambye nti baasitukiddemu ne bagendayo era okwetegereza omulambo nga gwe gwa Ssaazi gwe baabadde banoonya.

Yagambye nti Ssaazi abadde atambuza ssente ezisingawo nga kirabika abaamusse babadde bamumanyi.

MUKYALA W’OMUGENZI

Juliet Nabunya, mukyala w’omugenzi yagambye nti abadde amaze mu bufumbo omwaka gumu n’ekitundu nga balina omwana wa myezi mwenda.

Yagambye nti; “ Yasimbudde awaka ku ssaawa 2:00 ez’oku makya, kyokka yabadde yaakafuluma n’akomawo n’ansaba ka jaketi ne nkamuwa.

Namukubidde essimu ne mmujjukiza okumpa ssente z’amanda n’angamba nti ajja kuzimpa ng’akomyewo.

Oluvannyuma yankubidde essimu n’andagira okutwala omwana mu ddwaaliro era ne mmutwala. Bwe nnalabye ng’obudde bugenze ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana ne mukubira essimu kyokka nga teriiko.

Amagezi ganneesibye kuba tebadde nkola ye obutakwata ssimu era amawulire ge nazzeemu okufuna nti bamusse”.

MUGANDA W’OMUGENZI AYOGEDDE

Kato Peter 22, muganda w’omugenzi yagambye nti omugenzi y’abadde omusika wa kitaabwe nga babadde bakolera wamu okweyimirizaawo.

Omugenzi yaziikiddwa e Kiteredde mu ggombolola y’e Mulagi mu disitulikiti y’e Kyankwanzi ku Lwokusatu.

EBYEBUUZIBWA MU BUTEMU BUNO

  • Baamusse misana ne bamukuumira mu mmotoka ekiro omulambo ne baguvuga ne bagusuula e Matte.
  •  Ssaazi alina pikipiki gy’atambulirako naye lwaki ku luno bakama be baamulagidde agendere ku mmotoka ya dipo kyokka n’etemukomyawo.
  • Ssente yazinonye ku ssaawa 3:00 ez’oku makya, lwaki baazimuwadde ku ssaawa 7:00.
  • Dipo erina n’amatabi lwaki etuma omuntu ssente nga temuwadde bukuumi ng’ate nnyingi ddala.

 

Abantu abazze bawambibwa

Mu March, 2010: Banuli Sseguya yawambibwa abasajja abataategeerekeka bwe yali agenda ewuwe e Kabowa akawungeezi. Bagguddewo omusango gw’okubuzaawo omuntu e Katwe ku fayiro SD 70/08/03/2010.

March, 16, 2012: Poliisi y’e Mubende yanunula omwana Felix Mubangizi eyali agenda okusaddaakibwa John Mbabasa mu ssabo ku kyalo Katawa ekiri mu Mubende Town Council oluvannyuma lw’omusawo w’ekinnansi Mohammed Walakira gwe yali amutwalidde okutemya ku poliisi.

September, 09, 2013: Dan Bweya, eyali yabuzibwawo okumala ennaku bbiri yakomawo n’ategeeza nti abasajja baamuteega ne bamussa mu mmotoka ku ssaawa ssatu ez’ekiro ne bamukuumira mu nnyumba omutaabeeranga ttaala okumala ennaku bbiri okutuusa lwe baamuleka n’agenda.

July, 29, 2013: Poliisi y’e Nansana yanunula omwana Jonathan Mabikke 3, eyali awambiddwa Emmanuel Ssozi 24 n’amala naye ennaku nnya ng’asaba obukadde 3 okuva mu bazadde be alyoke abamuddize ng’awatali ekyo waakumusalako obulago.

Maama w’omwana Rashida Nalikka eyali e Sudan bwe yakomawo yakwatagana ne poliisi y’e Nansana eyatega Ssozi okuggya afune ssente z’ayagala ku Masitoowa e Nansana n’omwana poliisi we yamukwatira n’aggulwaako omusango gw’okuwamba omwana ku fayiro nnamba CRB/991/13.

June 24, 2015: Ekitongole kya Flying Squad kyakwata omuvubuka Geoffrey Bbaale 22 eyeekweka ewa mukwano gwe Muhammad Bukobe e Mpoma mu Mukono eyalimba kitaawe we William Banaalya nga bwe yali awambiddwa abazigu ng’amusaba obukadde 5 ayimbulwe.

April, 12, 2012; Musa Kitonsa, akwatibwa abatuuze abaamusanga n’omwana Victo Nabbanja (10) omuyizi mu P4 ku ssomero lya Gayaza C/U Primary mu kibira nga kigambibwa nti yali amuwambye okuva mu maka ga nnyina omuto Allen Namakula n’aggulwako omusango gw’okuwamba omwana n’ekigendererwa ky’okumusaddaaka ku fayiro nnamba SD :25/10/04/12 ku poliisi y’e Kasangati.

March, 15, 2016; Poliisi yalondoola abazigu abaawamba omwana Julian Bamanyisa, ne basaba bazadde be Julius Bamanyiza (taata) ne Mercy Akampulira (Maama) abatuuze b’e Buziga-Katuuso obukadde 50.

March, 19, 2014; omuwala Joan Namazzi 18 yali asoma S.6 mu St Mark e Namagoma, muwala wa Godfrey Lwanga ne Maimuna Namatovu abatuuze b’e Nabbingo ku kyalo Ttega mu ggombolola y’e Nsangi mu Wakiso yawambibwa abazigu ne basaba bazadde be obukadde bubiri kyokka omulambo gwe gwasangibwa Namasuba nga yattiddwa oluvannyuma lw’abazadde okulemwa okufuna ssente mu budde obwabaweebwa.

January, 26, 2012; Abavubuka baawamba Shamim Namusisi ow’e Kyengeza-Lwamaggwa eyali agenda okufumbirwa ne bamutemaatema nga bamulanga okulekawo muganzi we ate n’agenda mu nteekateeka z’okufumbirwa omulala.

April, 25, 2012; Ababbi baakuba omusawo Miriam Atusaasiire akolera mu ddwaaliro e Nabweru ebiragalalagala oluvannyuma lw’okumulaba n’akavangata ka bukadde 35 era ne bazibba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...