TOP

Omugole gwe baawamba ku mbaga ye azuuse

Added 21st October 2017

OKUVA abasajja lwe baavumbagira omugole omusajja ne bamuggya ku kasiki k’embaga ye, abooluganda lwe tebaddamu kutuula!

 Omugole Umwali abadde mu maziga. Ku ddyo, Baingana ne Umwali lwe baali e Rwanda ku mukolo gw'okwanjula. Ku kkono nga mukyala wa kkojjaabwe amukwasa ekirabo.

Omugole Umwali abadde mu maziga. Ku ddyo, Baingana ne Umwali lwe baali e Rwanda ku mukolo gw'okwanjula. Ku kkono nga mukyala wa kkojjaabwe amukwasa ekirabo.

Kaweefube akulungudde wiiki nnya nga banoonya 'abaawamba' omuntu waabwe, kyokka beekanze bamusanze mu kaduukulu e Kireka nga we yaggalirwa.

Abazadde bassizza ekikkoowe nga bategedde nti 'omugole' James Baingana 31, ali mu mikono gy’abaserikale.

Wabula baabuuzizza ogubadde, olwo abaserikale ba Flying Squad kwe kubategeeza nti, "Ono tumuvunaana butujju era tukyamunoonyerezaako."

Abooluganda lw’omusajja ono beewuunyizza engeri omuntu waabwe gye yakwatibwamu eyabalowoozesa nti, awambiddwa ne baggulawo ne fayiro SD: 25/23/2017 ku poliisi y’e Bukasa mu Munisipaali y’e Kira, nga baagala poliisi eyambeko okukwata abaawambye Baingana.

Beebuuzizza n’ekigendererwa ky’okumukwata ng’ali mu ssanyu ne banne beetegekera embaga eyali eyookubeerawo enkeera nga September 24, 2017 lwe baalina okugatta abagole mu Kkanisa y’Abadiventi e Kireka.

Ku kkanisa e Kireka baalinda abagole enkeera nga tebalabikako; okutuusa aba famire ya Baingana lwe baategeeza abakadde b’Ekkanisa nti omuntu waabwe yawambiddwa era ne basaba Ekkanisa eyimirize entegeka zonna ez’okugattibwa ezaali zikoleddwa.

Weema ezaali zitimbiddwa ku Alkeria Gardens e Bukasa we baalina okusembereza abagenyi, zaasigala zitunuulidde abateesiteesi era emmere eyali efumbiddwa kw’ossa ebyuma ebyali bipangisiddwa okukuba emiziki, nabyo byabadibirira.

Omugole omukazi Anosiyata Umwali yasigala mu maziga nga yeebuuza ekiddako takitegeera.

Mu kukwata Baingana, abasajja bana bajja nga bali mu ngoye ezaabulijjo.

Baasanga buli muntu yeetala ku kasiki era ne bayita Baingana ne batambula naye nga bamutwala ku mmotoka Corona enzirugavu abasajja abo mwe baali bajjidde.

Abaaliwo baagenda okulaba ng’abasajja bano banyoolagana ne Baingana okumuyingiza mu mmotoka era amangu ago emmotoka n’esimbula.

Vincent Nabenda kkojja wa Baingana yagezaako okuwondera ng’akozesa pikipiki, wabula yali atuuka e Mbuya, emmotoka endala n’emwekiika mu maaso era namwo ne muvaamu abasajja abaamukuba nga bwe bamukomekkereza obutaddangamu kweyingiza mu bitamukwatako.

EMISANGO GY’OBUTUJJU GITIISIZZA ABA FAMIRE

Oluvannyuma lw’okunnyonnyola ennyo, abaserikale bakkirizza okuyimbula Baingana ku kakalu ka poliisi era empapula kwe baamuyimbulidde eziriko ennaku z’omwezi October 17, 2017 ziriko emisango ebiri:

1 Okusirikira n’okuyambako abatujju (Abetting terrorism)

2 Okulya mu nsi olukwe (Treason) Abooluganda bonna kati bali mu kutya olw’obunene bw’emisango egyagguddwa ku muntu waabwe era Bukedde bwe yabatuukiridde; baagaanyi okubaako kye boogera ku nsonga zino.

Baingana naye yagaanyi okwogera, kyokka omu ku batuuze yategeezezza nti, baabadde babayitiddemu engeri gye baazudde omuntu ono.

Kigambibwa nti omu ku bantu eyaggalirwa mu kaduukulu ke kamu e Kireka ye yatemezza ku booluganda lwa Baingana nti omuntu waabwe bamukuumira eyo. Nti ono yakwatagana ne Baingana nga bali mu kaduukulu era buli omu n’awa munne ebimukwatako n’ennamba z’essimu z’aba famire ne beesuubiza nti anaasooka okuyimbulwa waakutegeeza ku ba famire ya munne.

Omu ku batuuze e Bukasa yagambye nti waliwo omusajja eyasooka okuganza Umwali nti era ono y’agambibwa nti yalina akakwate n’obutujju nga kiteeberezebwa nti abaakutte Baingana bazze batambulira ku kya “bba wa Umwali”.

Umwali azaalibwa Rwanda era mu March w’omwaka guno baategeka okwanjula, era bazadde ba Baingana ne mikwano gye ne beesitula ne bagenda e Kigali mu Rwanda gye baakolera omukolo ogwatambula obulungi ennyo.

Wabula akola ng’omuduumizi wa poliisi ya Kira Division, Shifah Mutibwa yagambye nti Baingana abadde yakwatibwa ekitongole ky’ebyokwerinda era bamunoonyerezaako.

Yagasseeko nti waliwo empapula ezaafunibwa nga zirimu n’okujingirira nga ziriko obubonero bwa Rwanda n’obwa Uganda nga kiteeberezebwa nti Baingana alina ky’abimanyiiko.

Baingana yali musuubuzi wa kasooli era yamutwalanga ne Rwanda era kigambibwa nti enkwatagana ye ne Umwali we yatandikira.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Baingana yakwatibwa ab’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI (Chieftaincy of Military Intelligence) wabula oluvannyuma ne bamutwala e Kireka mu ba Flying Squad.

EMBAGA BAGENDA KUGIDDAMU

Okuva Baingana lwe yayimbuddwa, enkiiko za famire zombi (ey’omusajja n’ey’omukazi) zaatandikiddewo okutuula e Bukasa mu Kira okutema empenda eziddamu embaga eyasasika.

Ssente obukadde 12 ze zaafiira mu nteekateeka eyasooka wabula baalaze obumalirivu okuddamu okusonda ssente endala okukakasa nti ekirooto kya Baingana ne Umwali okugattibwa mu bufumbo obutukuvu kituukirira ng’omwaka guno tegunnaggwaako.

Wabula waabaddewo amaloboozi agaabadde galaga okutya nga gava ku ludda lw’omusajja ne mikwano gye abamulumirirwa.

Baabadde bagamba nti akabonero akaaliwo ku lwa September 23, 2017 kamala okulaga nti omukazi wa bisiraani; wabula bino bazadde b’omusajja be bawuliriramu ennyo ne babinafuya.

Bakkaanyizza nti wadde Baingana alina okusigala nga yeeyanjula ku poliisi nga bwe yalagiddwa, embaga eddemu etegekebwe nga n’abebyokwerinda bwe bakola okunoonyereza.

Balina essuubi nti bwe banaazuula nga Baingana talina kakwate ku misango gye baamutaddeko, baakumuleka asigale ng’atambuza obulamu ne mukazi we Umwali.

OKUVA abasajja lwe baavumbagira omugole omusajja ne bamuggya ku kasiki k’embaga ye, abooluganda lwe tebaddamu kutuula! Kaweefube akulungudde wiiki nnya nga banoonya 'abaawamba' omuntu waabwe, kyokka beekanze bamusanze mu kaduukulu e Kireka nga we yaggalirwa. Abazadde bassizza ekikkoowe nga bategedde nti 'omugole' James Baingana 31, ali mu mikono gy’abaserikale. Wabula baabuuzizza ogubadde, olwo abaserikale ba Flying Squad kwe kubategeeza nti, "Ono tumuvunaana butujju era tukyamunoonyerezaako." Abooluganda lw’omusajja ono beewuunyizza engeri omuntu waabwe gye yakwatibwamu eyabalowoozesa nti, awambiddwa ne baggulawo ne fayiro SD: 25/23/2017 ku poliisi y’e Bukasa mu Munisipaali y’e Kira, nga baagala poliisi eyambeko okukwata abaawambye Baingana. Beebuuzizza n’ekigendererwa ky’okumukwata ng’ali mu ssanyu ne banne beetegekera embaga eyali eyookubeerawo enkeera nga September 24, 2017 lwe baalina okugatta abagole mu Kkanisa y’Abadiventi e Kireka. Ku kkanisa e Kireka baalinda abagole enkeera nga tebalabikako; okutuusa aba famire ya Baingana lwe baategeeza abakadde b’Ekkanisa nti omuntu waabwe yawambiddwa era ne basaba Ekkanisa eyimirize entegeka zonna ez’okugattibwa ezaali zikoleddwa. Weema ezaali zitimbiddwa ku Alkeria Gardens e Bukasa we baalina okusembereza abagenyi, zaasigala zitunuulidde abateesiteesi era emmere eyali efumbiddwa kw’ossa ebyuma ebyali bipangisiddwa okukuba emiziki, nabyo byabadibirira. Omugole omukazi Anosiyata Umwali yasigala mu maziga nga yeebuuza ekiddako takitegeera. Mu kukwata Baingana, abasajja bana bajja nga bali mu ngoye ezaabulijjo. Baasanga buli muntu yeetala ku kasiki era ne bayita Baingana ne batambula naye nga bamutwala ku mmotoka Corona enzirugavu abasajja abo mwe baali bajjidde. Abaaliwo baagenda okulaba ng’abasajja bano banyoolagana ne Baingana okumuyingiza mu mmotoka era amangu ago emmotoka n’esimbula. Vincent Nabenda kkojja wa Baingana yagezaako okuwondera ng’akozesa pikipiki, wabula yali atuuka e Mbuya, emmotoka endala n’emwekiika mu maaso era namwo ne muvaamu abasajja abaamukuba nga bwe bamukomekkereza obutaddangamu kweyingiza mu bitamukwatako. EMISANGO GY’OBUTUJJU GITIISIZZA ABA FAMIRE Oluvannyuma lw’okunnyonnyola ennyo, abaserikale bakkirizza okuyimbula Baingana ku kakalu ka poliisi era empapula kwe baamuyimbulidde eziriko ennaku z’omwezi October 17, 2017 ziriko emisango ebiri: 1 Okusirikira n’okuyambako abatujju (Abetting terrorism) 2 Okulya mu nsi olukwe (Treason) Abooluganda bonna kati bali mu kutya olw’obunene bw’emisango egyagguddwa ku muntu waabwe era Bukedde bwe yabatuukiridde; baagaanyi okubaako kye boogera ku nsonga zino. Baingana naye yagaanyi okwogera, kyokka omu ku batuuze yategeezezza nti, baabadde babayitiddemu engeri gye baazudde omuntu ono. Kigambibwa nti omu ku bantu eyaggalirwa mu kaduukulu ke kamu e Kireka ye yatemezza ku booluganda lwa Baingana nti omuntu waabwe bamukuumira eyo. Nti ono yakwatagana ne Baingana nga bali mu kaduukulu era buli omu n’awa munne ebimukwatako n’ennamba z’essimu z’aba famire ne beesuubiza nti anaasooka okuyimbulwa waakutegeeza ku ba famire ya munne. Omu ku batuuze e Bukasa yagambye nti waliwo omusajja eyasooka okuganza Umwali nti era ono y’agambibwa nti yalina akakwate n’obutujju nga kiteeberezebwa nti abaakutte Baingana bazze batambulira ku kya “bba wa Umwali”. Umwali azaalibwa Rwanda era mu March w’omwaka guno baategeka okwanjula, era bazadde ba Baingana ne mikwano gye ne beesitula ne bagenda e Kigali mu Rwanda gye baakolera omukolo ogwatambula obulungi ennyo. Wabula akola ng’omuduumizi wa poliisi ya Kira Division, Shifah Mutibwa yagambye nti Baingana abadde yakwatibwa ekitongole ky’ebyokwerinda era bamunoonyerezaako. Yagasseeko nti waliwo empapula ezaafunibwa nga zirimu n’okujingirira nga ziriko obubonero bwa Rwanda n’obwa Uganda nga kiteeberezebwa nti Baingana alina ky’abimanyiiko. Baingana yali musuubuzi wa kasooli era yamutwalanga ne Rwanda era kigambibwa nti enkwatagana ye ne Umwali we yatandikira. Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Baingana yakwatibwa ab’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI (Chieftaincy of Military Intelligence) wabula oluvannyuma ne bamutwala e Kireka mu ba Flying Squad. EMBAGA BAGENDA KUGIDDAMU Okuva Baingana lwe yayimbuddwa, enkiiko za famire zombi (ey’omusajja n’ey’omukazi) zaatandikiddewo okutuula e Bukasa mu Kira okutema empenda eziddamu embaga eyasasika. Ssente obukadde 12 ze zaafiira mu nteekateeka eyasooka wabula baalaze obumalirivu okuddamu okusonda ssente endala okukakasa nti ekirooto kya Baingana ne Umwali okugattibwa mu bufumbo obutukuvu kituukirira ng’omwaka guno tegunnaggwaako. Wabula waabaddewo amaloboozi agaabadde galaga okutya nga gava ku ludda lw’omusajja ne mikwano gye abamulumirirwa. Baabadde bagamba nti akabonero akaaliwo ku lwa September 23, 2017 kamala okulaga nti omukazi wa bisiraani; wabula bino bazadde b’omusajja be bawuliriramu ennyo ne babinafuya. Bakkaanyizza nti wadde Baingana alina okusigala nga yeeyanjula ku poliisi nga bwe yalagiddwa, embaga eddemu etegekebwe nga n’abebyokwerinda bwe bakola okunoonyereza. Balina essuubi nti bwe banaazuula nga Baingana talina kakwate ku misango gye baamutaddeko, baakumuleka asigale ng’atambuza obulamu ne mukazi we Umwali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...