TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutabaazi atutte omujaasi ku poliisi lwa mmwaanyi

Mutabaazi atutte omujaasi ku poliisi lwa mmwaanyi

Added 22nd October 2017

Mutabaazi atutte omujaasi ku poliisi lwa mmwaanyi

 Mutabaazi ( ku ddyo) ng’alaga abatuuze endokwa z’emmwaanyi z’agamba nti mbi.

Mutabaazi ( ku ddyo) ng’alaga abatuuze endokwa z’emmwaanyi z’agamba nti mbi.

SSENTEBE wa disitulikiti y’e Lwengo, George Mutabaazi atutte akulira ekitongole kya ‘Operation Wealth Creation’ Major Johnson Katongole ku poliisi y’e Kyazanga lwa kumusanga ng’agabira abatuuze endokwa z’emmwaanyi z’agamba nti tezituukana na mutindo.

Emmwaanyi zaabadde ku loole ya Fuso obwedda kw’aziggya ng’agambira abantu nga zirina ebikoola bibiri ekireetedde Mutabaazi okugamba nti tezituukana na mutindo. “Bassebo tubeegayiridde, Pulezidenti Museveni yabakwasa obuyinza ng’abeesize mbasaba muleme kumuswaza nga mugabira abantu obumwaanyi obwakava mu ttaka”. Mutabaazi bwe yategeezezza Major.

Katongole . Mutabaazi emmwaanyi yazigobye n’alagira abatuuze obutageza kutwala mmwaanyi zino newankubadde za bwereere n’agamba nti ensimbi eziweebwa ekitongole kino za muwi wa musolo nga ba ddembe okuzira ebyo byebalaba nga tebituukana na mutiindo.

Yalagidde abatuuze okumuloopera ababagabira ebintu ebitali ku mutindo n’abasaba okusooka okwetegeereza emmwaanyi ezibaweebwa bwe ziba teziweza bikoola mukaaga tebazitwala, basooke bamukubire essimu. Yasabye Major Katongole amunnyonnyole ekimugabisa endokwa z’emmwaanyi ento kyokka n’agaana okubaako kyayogera.

Abatuuze baategeezezza nga bwe baweebwe ebintu ku mudumu gw’emmundu nga kiba kizibu okubigaana. Mutabaazi yaweze okukuba abantu abaweebwa ebirime ne bikalira ku mbalaza n’agamba nti be bavuddeko okunafuya obulimi mu disistulikiti n’abamu okulumwa enjala.

Major Katongole yagaanyi okwogera n’omusasi nga ne poliisi yagambye nti ekyanoonyereza okuzuula oba ddala kituufu emmwaanyi ezaaleeteddwa tezaabadde ku mutindo balyoke babeeko kye boogera ku musango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Munnamateeka wa Kyagulanyi, Sseggona (wakati) ng’awayaamu n’omuwandiisi wa NUP, , Lubongoya  (ku ddyo) ku kkooti .

Buubuno obukwakkulizo gavum...

GAVUMENTI eyagala Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangirire nti tagenda kwetaba mu bikolwa bya kwekalakaasa...

Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.

Ensiitaano y'okutaasa ttani...

POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe...

Loodi Meeya Lukwago.

Lukwago anaakolagana atya n...

MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu...

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

15 beesowoddeyo okugonjoola...

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?...

Rogers Mulindwa

'Manifesito ya NRM ebyemiza...

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti...