TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda abaafumbirwa awamu balaze bwebakikola okumalako

Abooluganda abaafumbirwa awamu balaze bwebakikola okumalako

Added 22nd October 2017

Abooluganda abaafumbirwa awamu balaze bwebakikola okumalako

 Gladys Nanjaya ku ddyo yaleeta muto we Nakyagaba bafumbe bonna.

Gladys Nanjaya ku ddyo yaleeta muto we Nakyagaba bafumbe bonna.

AMAGYE bwe gabeera mu lutalo ne galaba ng’omulabe atandise okugafunza gadda emabega ne gategeka olulumba sinziggu okulaba nti omulabe gamuzza emabega. Nange bwe nazaala omwana owookutaano, ne ndaba ng’embeera za baze Livingstone Sseruyange zitandise okukyuka, omutima gwankubira nti alabika ayagala kuleeta munnange tufumbe.

Nasiriikirira ne nneebuuza bwe mba njiiya baze ne nzijukira nti ewa ssebo, taata anzaala yali yawasa abooluganda nga bamaama omu y’adda ku munne era nga mu maka mwalimu essanyu nga n’okutukuza baatukuza bulungi. Eno ye yali emmanduso y’okuleeta muto wange mu ddya tufumbe ffembi okusinga okuleeta omuntu gwe simanyi.

Nze Gladys Nanjaya (70) ow’e Kampomera e Masuliita mu Wakiso nga tufumbye ne muto wange Getu Nakyagaba (69) mu ddya. Weewuunye bwe ntambula nga siri na muto wange Getu, abantu kye basooka okumbuuza nti mulongo munno omulese wa? Kino bakyogera lwa kuba tetuteηηana.

Emirimu tugikolera wamu omuli okulima, okufumba okutwala embuzi ku ttale. Ne bwe ziba ngoye tuzigabana omu ayinza okwambala olwa munne n’otomanya nnyini lwo.

 

NFUMBIRWA EWA SSERUYANGE

Nga ntandise okuvubuka, ssengange Bena Namukasa yandabira omwami Sseruyange ebiseera ebyo ng’amabeere temuli kaleega. Twafumbiriganwa mu 1957 ng’embaga yali ku Kkanisa e Wololo. Nafumbirwa ku kyalo Kampomera ekyesudde mayiro 4 okuva ewaffe. Mu maka ga Sseruyange saasangamu mukazi mulala ng’enju ya bisenge bisatu.

Emyaka egyasooka twatambula bulungi mu maka n’omwami wange wabula bwe nzaala omwana waffe owookutaano nalaba ng’omwami atandise okukyuka mu mbeera ze. Namanya nti yandiba ng’alina pulaani y’okuleeta omukazi omulala mu ddya kwe kuyiiya.

NDEETA MUTO WANGE

Namusalira olukujjukujju ne mmusaba awase muto wange Getu. Olwokuba baze yali amanyi bulungi Getu kuba baakyalanga ewange mu luwummula ng’abalaba n’akkiriza kuba yali afunye n’ekirowoozo ky’okungattako omulala. Nasitukiramu ne ηηenda awaka ensonga ne nziyitiramu bakadde bange ne bakkiriza. Mu 1965 twateekateeka emikolo gy’okwanjula Getu Nakyagaba.

Nali musaale mu kuteekateeka okwanjula kuno anti baze yampanga ssente nga nze ngula buli kimu ekyatwalibwa ku buko. Mu bino mwalimu ekibbo ky’ennyama, emigaati ne kalonda w’ebintu ebirala.

Nalondoola engeri ebintu gye bitegekeddwaamu awaka tuleme kuswala ate nga bwe nkola ku bigenda okwanjula. Ku lunaku lw’okwanjula awaka nagendera ku ludda lw’abako. Nagenda ne baze nga nninga mwannyina w’omugole. Nze nayambaza Nakyagaba ekimuli nga mwannyina w’omugole omusajja. Twamusiba kadaali ne twolekera ewaffe mu nnyumba ey’ebisenge ebisatu. Baze yali yamutegekedde ekisenge ekitunudde obutereevu mu kyange.

Yatusalira ebiyungu ne tutandika kufumba na kuzaala baana. Yamugulira enkumbi naye n’amuwa ekibanja ne tutandika okulima.

TUSIBIRA BBAFFE EKIKOOKOLO Obufumbo bwaffe bwatambula bulungi n’okutuusa kati tuli ffembi. Ebisinga twabikoleranga wamu omuli okufumba emmere nga tukolera wamu okutandikira ku kuwaata. Bwe tujjula emmere. olwokuba twali bangi awaka nga omu bw’agaba emmere ate omulala n’agaba enva.

 

Muto wange nafuba okumuyigiriza engeri y’okulabiriramu omusajja naye n’akikwata. Yali mulimi mukuukuutivu era yaliko ssentebe w’ekibiina ky’abeegassi ekya Kampomera Lwemwedde Coffee Factory.

Wabula bbaffe yali si mwangu engeri gye yali alina ebibanja ebinene nga mulimi yafunanga ssente ng’atunze ebirime n’agenda n’acakala. Eyo gye yacakaliranga ng’alinayo abakazi abalala ng’olwo bw’anadda tujja kumusibira ekikookolo mu maka. Bwe twamusibiranga ekikookolo ng’awera nti, ‘Nange nja kubakubamu omukazi omulala kuba mmwe muli baaluganda mwagala kunnemesa’ olwo nga tubivaako.

Yadde teyawasa mukyala mulala naye yatuleeterayo abaana babiri be yazaala ebbali. TWACAKALIRANGA WAMU Omwami waffe yali mukkakkamu naye ng’atufuga kuba yalina ebbuba ng’alowooza abasajja bayinza okutukwana. Nga tutambula naye okugenda ku mikolo. Wabula waliwo olumu lwe yatwefuuliranga ng’omaze n’okwambala n’akugaana okugenda.

Olulala ng’akupimira obudde ng’omwana omuto n’abagoba mudde awakaNga ssaawa bwe ziwera 2.00

BYE TUFUNYE MU BUFUMBO

Abaana baffe tubakulizza wamu nga tebeeboola. Tubakuzizza bulungi nga basobola okwekolera. Tufumba mu ntamu emu. Abazzukulu tubalabirira wamu. Omu bw’abeeera n’obuzibu omulala asobola okumujjanjaba nga tatawaanye kuyita b’ebbali

OKUSOOMOOZEBWA

Ekizibu bwe kigwa mu nnyumba ffembi kitukwatako n’abaana baffe. Awaka tuvaawo lumu ne tugenda eka nga waliyo omukolo gwonna.

KITAFFE YAWASA BAALUGANDA

Ewaffe abooluganda okufumbirwa omusajja omu tetukirinaamu buzibu, twakiggya ku ngozi, anti kitaffe Yowasi Katimbo eyabeeranga ku kyalo Wololo mu ggombolola y’e Masuulita mu disitulikiti y’e Wakiso yawasa baaluganda ate ng’omu y’adda ku munne ate nga bafumba mu nju emu. Ng’oggyeeko abo waliwo ne baganda baffe abalala basatu abaazalibwa maama omulala nabo baafumbirwa omusajja omu.

Mu baganda bange bano kuliko Christine Kagabane , Betty Muzanganda ne Victo Namukasa nga baafumbirwa mulamu waffe omulala Ssebagala. Maama waabwe bonna ye yali Miriam Nagadya.

SAALINA BUGAANIRO -NAKYAGABA

Mukyala muto Nakyagaba agamba: Abakadde bwe bantegeeza nti ηηenda kufumbirwa bbaffe, owa mukulu wange saalina kyakukola kuba edda ffe baatulabiranga bulabizi. Saalina bugaaniro kuba awaka, ffe abaana abawala kitaffe teyatusomesanga kugenda wala ng’agamba nti abawala bamala ssente ng’ate enkomerero yaakufumbirwa.

Bwe baηηamba nti ηηenda kufumbirwa mwami Sseruyange saakisangamu buzibu kuba nali mmumanyi ate nga mukulu wange y’antwala. Ate si ffe twali tusoose kuba ne bamaama baaluganda naye nga bafumba mu nju emu. Wano abakadde baatandika okuteekateeka emikolo nga bayambibwako mukulu wange ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kangaawo ng'ayogera e Butuntumula.

Kangaawo akunze Abalemeezi ...

OMWAMI wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly' e Bulemeezi, Kangaawo Ronald Mulondo agugumbudde bassemaka  abaganza...

Pulezidenti wa DP Norbert Mao ne Ismail Kirya mu lukiiko ne bannamawulire.

Aba DP basabye Gavt. okuliy...

BANNAKIBIINA kya DP basabye Gavumenti okuliyirira abantu bonna abagenda okufiirwa ettaka awagenda okuyita payipu...

Dayirekita Wambuga (ali mu kkooti) ng' agezaako okunnyonnyola abasomesa abamutabukidde.

Abasomesa batabukidde dayir...

Emirimu gisannyaladde ku ssomero lya Good Luck Junior School e Katalemwa mu ggombolola y'e Gombe mu disitulikiti...

Omukazi nga bamusitula okumussa ku kabangali bamutwale mu ddwaaliro.

Kabangali ya poliisi etomed...

KABANGALI ya poliisi ewabye n'erumba okukazi abadde atambulira ku mabbali g'ekkubo okukkakkana ng'emumenye okugulu....

Mu Kkooti ye kkansala w'e Luzira, Willy Turinawe  ng'atottola obulumi bwe bayitamu.

Abatuuze batabukidde abayoo...

ABATUUZE ba Stage 7 e Luzira ekisangibwa mu Munispaali y'e Nakawa bavudde mu mbeera ne batabukira abakozi ba Kkampuni...