TOP

Abawakanya emyaka babatwalidde mu bbuutu

Added 23rd October 2017

PISITO musanvu ne AK47 ssatu; z’emmundu ze baakozesezza okukwata abawagizi ba FDC bana abaabadde bakunga abantu okwetaba mu lukiiko oluwakanya okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

 Yagasse babiri ebitogi n’abatwalira mu mulengo.

Yagasse babiri ebitogi n’abatwalira mu mulengo.

Bya WEZIRI DAMBA  NE MUWANGA KAKOOZA 

PISITO musanvu ne AK47 ssatu;  z’emmundu ze baakozesezza  okukwata abawagizi ba FDC  bana abaabadde bakunga abantu  okwetaba mu lukiiko oluwakanya  okuggyawo ekkomo ku myaka gya  Pulezidenti. 

Abasajja abaabadde mu ngoye  eza ‘leeya’ nga pisito zibali mu  biwato ate abalala nga zibali  mu ngalo, baatadde abantu ku  bunkenke nga bakwata aba FDC  abaabadde bakutte ebipande okwabadde  ebigambo ‘Togikwatako.’ 

Ow’emmundu ku bodaboda ng’awerekera mmotoka omwabadde abaakwatiddwa.

 

Abaabadde n’emmundu ez’ekika  kya AK47 baazikookinze ne bazikwata  ng’abali mu ddwaaniro. 

Mu kukwata abantu bano abana,  ekyasinze okukanga abaabaddewo  y’engeri aba pisito gye  baatwalidde abasajja ku mudumu  gw’emmundu ne babasonseka mu  bbuutu y’emmotoka ne babaggaliramu  ne bavuga ne beggyawo. 

Abaabadde balaba, baasigadde  beebuuza ekigenda mu maaso nga  tebakitegeera.  Nga tebannabayingiza mu  bbuutu, baasoose kubafukamiza  wansi ne babakuba  empi n’ensambaggere.

Omu ku  basajja ab’emmundu, yabuukidde  bodaboda UDX 375J n’agoberera  emmotoka Noah UAQ 760D mwe  baabadde bapakidde abawagizi ba  FDC mu bbuutu.

Ow’emmundu  eyabadde ku bodaboda naye  yagenze yeekaaliisa ne piisito mu  ngalo. 

Abaakwatiddwa baabadde  bakulembeddwa Ssentebe  w’abavubuka ba FDC e Mbarara,  Yasin Matsiko ne munne Mohammad  Mpagi era be baatandikiddeko  okukwata olwo ne babagattako  bannaabwe abalala babiri  abaabadde bazze okwetaba mu  lukiiko lwa oluwakanya okukyusa  emyaka gya Pulezidenti olwabadde  lutegekeddwa ku Comfort  Hotel e Mbarara ku Lwomukaaga. 

Ebipande okuli ebigambo  ‘Togikwatako’ nabyo byaboyeddwa  ne bitwalibwa ng’ebizibiti.    

Babavunaana kukuba lukiiko lutali mu mateeka  Omuduumizi wa poliisi e Mbarara,  Isaac Kambugu bwe yagambye nti  talina ky’amanyi ku baakutte era  n’omwogezi wa poliisi mu kitundu  kya Rwizi Samson Kasasira naye  n’ategeeza nti naye tabamanyiiko,  olwo bannabyabufuzi mu Mbarara  ne batandika okugamba nti abasajja  abo baavudde mu nkambi y’amagye e  Makenke.

  Wabula omwogezi wa poliisi mu  ggwanga, Asan Kasingye yategeezezza  Bukedde eggulo nti abantu bano  baakwatiddwa ekitongole kya poliisi  ekirwanyisa obumenyi bw’amateeka  obw’amaanyi ekya Flying Squad era  baabadde bakolera mu mateeka. 

Yagasseeko nti baategeezeddwa  nti abantu abo baabadde bategese  olukungaana olumenya amateeka  era ne bagendayo okukakasa nti  terubeerawo.

Yagambye nti bonna  abana baabagguddeko omusango  gw’okukuba olukungaana olumenya  amateeka. 

Aba famire z’abaakwatiddwa  baalaze okunyolwa  olw’engeri abantu baabwe  gye baakwatiddwaamu  ng’abatujju, ate okuva lwe  baakwatiddwa baagezezzaako  okunoonya gye  baabasibidde wabula nga  buli poliisi gye bagendako  ebategeeza kimu nti terina  ky’emanyi kw’ebyo. 

Aisha Nakayima muka  Matsiko yagambye nti  banoonyezza naye bakyabuliddwa.  Ate Amina  Naluyinda muka Mpagi  ng’amaziga gamuyitamu  yagambye nti, abaserikale  basusse okukwata bba  era gye buvuddeko  baamukwata ne bamuggalira  e Nalufenya wabula  n’avaayo nga tebalina  musango gwe bamuvunaanye  kyokka nga bamukubye  nnyo era baamala ekiseera  nga bamujjanjaba. 

Kasingye yagambye nti  we baasibidde abantu  bano wakyakuumibwa  nga wa kyama, kyokka  n’awa aba famire  amagezi okugenda mu  Kampala balabe akulira  Flying Squad Herbert  Muhangi abannyonnyole  ebikwata ku bantu baabwe. 

Nakayima muka Matsiko n’abaana baabwe.

 

BAVUMIRIDDE  EBY’OKUTWALIRA ABANTU  MU BBUUTU 

Mu kuyingiza abantu  bano mu bbuutu, obwedda  abaabakutte baddihhana  ekigambo “Panda Ggaali”  ekyakozesebwa ennyo ku  mulembe gwa Milton  Obote era abalwanirizi  b’eddembe ly’obuntu  bagamba nti ebikolwa  bino bijjukiza abantu  effugabbi eryaliwo. 

Dr. Livingstone Ssewannyana  akulira ekibiina  ky’eddembe ly’obuntu  ekya ‘Foundation for  Human Rights Initiave’  yagambye nti ebibinja  by’abakuumaddembe  ebitafaayo ku ddembe  ly’obuntu bizze bibeerawo  ku buli mulembe era  gavumenti ya NRM erina  okukangavvula ekibinja kino  kuba bw’eneekireka ne kisigala nga  kikwata abantu mu ngeri eyo, egenda  kuba terina njawulo ne gavumenti ze  yamaamulako. 

Omumyuka w’omwogezi wa FDC,  Paul Mwiru kino yakiyise kutulugunya  okugendereddwaamu okutiisa abawakanya  ekkomo ku myaka, n’agamba  nti bwe baba balina omusango  batwalibwe ku poliisi ezimanyiddwa  zibaweereze mu kkooti, okusinga  okubasibira mu bifo ebitategeerekeka. 

Kasingye bwe yabuuziddwa ku  ky’okutwalira abantu mu bbuutu,  yagambye nti poliisi tekkiriza bikolwa  ebyo era lipooti gy’alina eraga nti  abaakwatiddwa baayingiziddwa bulungi  mu mmotoka.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abapoliisi nga baggya ente mu mmotoka mwe yabadde eteereddwa okukusibwa.

Poliisi ebasuuzizza mmotoka...

ABASAJJA basatu abateeberezebwa okubeera ababbi b’ente baakiguddeko bwe beesanze ng’ekkubo lye babadde bakutte...

Ennyumba ya Nakiberu  eyakoneddwa.

Bakanyama bakoonye enju y'o...

OMUTUUZE ali mu maziga oluvannyuma lwa bakanyama okukkakkana ku mayumba ge ne bagamenya n’okwonoona ebintu bye...

Batwala ng’alaga ennyumba ye eyatundiddwa.

Omupangisa atunze ennyumba ...

Ssentebe wa disitulikiti alumirizza omupangisa okutunda ennyumba ye gy’abadde yamupangisa era olumaze n’asibamu...

Ttakisi yasibidde ku mulyango gwa ssomero.

Babiri bafi iridde mu kaben...

ABANTU babiri baafi iriddewo n’abalala musanvu ne batwalibwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bafunye ebisago, ttakisi...

Eby'omulambo gwa Looya eyaf...

Bya Stuart Yiga OMULAMBO gwa munnamateeka Bob Kasango eyafiiridde mu kkomera e Luzira ku Lwomukaaga oluwedde...