TOP

Owa S.4 akwatiddwa lwa kubba bigezo

Added 23rd October 2017

POLIISI ekutte omuyizi eyeekobaanye n’omusomesa we n'amubbira ebigezo bya S4 ebyakamalirizo.

Abayizi ba  Semuliki High School, Bundibugyo  nga batuula ekigezo kya Biology Practicals

Abayizi ba Semuliki High School, Bundibugyo nga batuula ekigezo kya Biology Practicals

Moses Sseguma omuyizi mu ssomero lya Timuna SS  e Nakaseke ye yakwatiddwa  oluvanyuma lw’okwenyigira mu kubba ebigezo ng'ayambibwako omusomesawe  Nicholas Kibirige.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Asan Kasingye agambye nti abakuuma ebigezo baakutte Sseguma nga bamaze okumwekengera nti yabadde agezaako okubba ebigezo naddala ekya Biology ( Practicals), kyokka olw'okutya yabategeezezza nti omusomesa we ye yamuyambyeko.

Agambye nti mu kiseera kino poliisi ebakaganye n'ogwokunoonya omusomesa Kibirige avunaanibwe kuba olwakitegedde nti anoonyezebwa n'adduka ku ssomero.

Ayongeddeko nti poliisi ebadde tennafuna misango n’obuvuyo mu bigezo bya S4 ebiri mu kikolebwa okuggyako ekyabadde e Nakaseke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...