TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eggyewo envumbo ku nkung'aana za 'Togikwatako'

Poliisi eggyewo envumbo ku nkung'aana za 'Togikwatako'

Added 24th October 2017

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Asan Kasingye alangiridde nti ekiragiro ekiwera ababaka ba Palamenti okukuba enkuhhaana ez’awamu kiggyiddwaawo nga kati baddembe okugenda mu nkung'aana mu bitundu bye batakiikirira.

 Kasingye

Kasingye

Kasingye yalangiridde nti ekiragiro ekiwera ababaka ba Palamenti okukuba enkung'aana ez’awamu kiggyiddwaawo nga kati baddembe okugenda mu kuhhaana mu bitundu bye batakiikirira.

Wabula Kasingye yagambye nti enkuhhaana za bannabyabufuzi ziteekwa okugoberera amateeka agafuga enkung'aana n’akisimbako amannya nti poliisi tejja kulonzalonza kugumbulula nkuhhaana ezimenya amateeka.

Bino biddiridde poliisi okweyambisa eryanyi omuli okukuba amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula enkung'aana e Kasubi, Nateete, Makindye, Rukungiri, Mbale n’awalala n’eremesa ab’oludda oluvuganya okwebuuza ku bantu ku by’okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Omuntu omu ye yaakattibwa mu nkung'aana ezo poliisi z’egumbuludde n’eryanyi ate bangi ne batuusibwako ebisago eby’amasasi, amayinja n’ebinuubule ebirala wakati mu kudduka nga bataasa obulamu.

Ekiragiro ekiwera enkung'aana ez’awamu kyali kiyisiddwa akulira ebikwekweto bya poliisi, Asuman Mugenyi nga October 16, 2017.

Kyokka Kasingye yagambye nti ababaka baddembe okukuba enkung'aana ez’awamu kasita zigoberera amateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.