TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olukwe olwasse muka ssentebe lwalukiddwakuva mutabani waabwe - Poliisi

Olukwe olwasse muka ssentebe lwalukiddwakuva mutabani waabwe - Poliisi

Added 25th October 2017

OLUKWE olwalukiddwa okutemula muka ssentebe wa disitulikiti y’e Kalungu abaalukoze baatandikidde mu makaage mwennyini.

 Walugembe (ku kkono) n’omu ku mikwano gye bwe baabakutte.

Walugembe (ku kkono) n’omu ku mikwano gye bwe baabakutte.

Poliisi eteebereza nti baakozesezza mutabani we omukulu Emmanuel Walugembe eyakesse nnyina lw’anaasula mu maka gano olwo n’ayita banne ne bamumaliriza.

Baakozesezza mbazzi ne bamutema ku nsingo ne feesi, embazzi ne bagisuula mu kaabuyonjo eriraanyeewo.

Poliisi yategeezezza nti, obubonero obwasangiddwa awaka we battidde Lilian Nansubuga 46, bulaga nti eyasse teyabadde omu wabula yabadde ayambibwako abalala.

Bakiggya ku ngeri gye baasanzeemu omulambo gwa Nansubuga nga guganzikiddwa bulungi ku kitanda ekikadde era nga tegulaga nsiitaano yonna okuggyako omusaayi ogwabadde gukulukuse.

Kyandiba ng’abatemu omugenzi baamuttidde mu kifo kirala ne bamusitula ne bamussa ku kitanda balowoozese abanajja okudduukirira nti omugenzi yafudde bibye!

Wano poliisi we yasinzidde n’ekwata omutabani ono eyabadde amaze okudduka awaka era n’etandika okumusoya ebibuuzo.

Poliisi eyagala okumanya engeri abatemu gye baayingidde mu nnyumba ne bamubuuka nga tawulira ne batemula nnyina ne bagenda nga talabye yadde okuwulira. (Mu nnyumba mwe babadde basula, obadde osooka mu ddiiro mutabani w’abadde asula nga tonnatuuka mu kisenge).

Poliisi eyakulembeddwa agiduumira mu kitundu kya Greater Masaka, Latif Zaake bwe yatuuse mu maka gano yeekenneenyezza obubonero obunaagituusa ku batemu we baalabidde amatondo g’omusaayi nga gagenda gadda mu kaabuyonjo.

Eno gye baasanze embazzi ne bazuula nti, olwamaze okugitemuza Nansubuga ne bagisuulayo.

Embazzi ya mukadde Madalena Wannyana nnyina w’omugenzi Nansubuga era jjajja wa Walugembe.

 

Yategeezezza nti muzzukulu we, yagimweyaziseeko eggulolimu nti alina by’agenda okukola.

Nga nnyina amaze okutemulwa, Walugembe teyategeezezza kitaawe Richard Kyabaggu wadde okutuuka mu makaage oba okumukubira essimu so ng’era teyategeezezza ku poliisi y’omu kitundu e Miwuula - Lwabenge. (Ssentebe alina amaka amalala era gye yabadde asuze).

Ettemu lino lyabadde ku kyalo Kabaale e Lwabenge mu Kalungu nga ssentebe w’ekyalo kino, Fred Kiegga ate muliraanwa w’omugenzi bwe basalagana ebibanja yategeezezza nti, ekiro kyonna teyawuliddeko ku nduulu.

Nti ettemu lino baalitegedde ku makya omwana omulala omuto bw’abatemezzaako nti, alaba nnyina mu buliri n’ekiwundu ku mutwe n’ekitaba ky’omusaayi.

Wano we baategeerezza poliisi eyazze n’embwa enkonzi y’olusu.

Nansubuga abadde musomesa mu ssomero lya Kabaale Tawuhid P/S era alikulira Abdimajidu Hiisa yagambye nti Nansubuga abadde musomesa we.

Kyabaggu yagambye nti e Kabaale we wali mukyala mukulu gwe yawasa embaga nga Nansubuga baakwanagana mu buvubuka n’amuzaalamu abaana babiri.

Agamba nti kennyini yateebereza mutabani we Walugembe n’amuwaayo mu mikono gya poliisi ng’asookerwako mu bateeberezebwa okutta nnyina Nansubuga.

Bakubidde Walugembe ssimu nga beeyambisa eza mikwano gye era bw’atuuse ne bamubuuza kajogijogi w’ebibuuzo ng’atamattama kwe kumussaako empingu ne banne babiri okuli David Zzimbe ne Lawrence Kato.

Bano baagyiddwaawo mu bukuumi ng’abatuuze batandise okwesala akajegere.

Kigambibwa nti, Walugembe bulijjo akijjanya nnyina nga yatuuka n’okumulesaawo enju eno gy’abadde tannamaliriza bulungi.

Ssentebe Kyabaggu agamba nti, Walugembe yajeema okusoma okutuusa bwe yamutwala mu galagi e Masaka ayige obwamakanika era abadde amanyi gy’asula.

Abakulembeze David Sseggawa (LCIII Lwabenge) Erinest Munene (LCIII Kyamuliibwa, RDC Hajji Abubaker Lubega Kaddunnabbi n’omubaka omukazi owa Palamenti Aisha Ssekindi ettemu lino balitadde ku njaga mu bavubuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...