TOP

Ebyuma byokezza abakozi e Lugazi

Added 25th October 2017

ABAKOZI ba kkampuni y’emitayimbwa e Lugazi batwaliddwa mu ddwaaliro e Kawolo nga bali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’ebyuma ebibadde bisaanuusibwa okubasammukkira ne bibookya.

 Rehema Nassanga mu ddwaaliro ly’e Kawolo.

Rehema Nassanga mu ddwaaliro ly’e Kawolo.

Abakozi musanvu mu Tembo Steels e Lugazi be bayidde era babawadde ebitanda.

Bano kuliko Rehema Nassanga ow’e Kitega, Nnaalongo Patricia Namwanje ow’e Kikawuula Lugazi, Rose Namata w’e Katungulu mu Kawolo, Annet Nawaggi ow’e Katungulu, Doreen Nambi ow’e Nakazadde, Esther Amuge ow’e Kitega n’omulala eyategeerekeseeko erya Muhaasa.

Meeya w’e Lugazi, Deo Tumwesigye Mbabazi ategeezezza nti obuzibu buva ku bannamakolero obutagoberera mateeka agabafuga.

N’agamba nti abakozesa kibakakatako okuwa abakozi ebyokwambala omuli engatto eηηumu, wovulo n’ebikoofi ira ebibatangira okufuna obubenje nga buno.

Asabye aba kkampuni eno bajjanjabe abakozi bano ate babaliyirire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...