TOP

Eyasse nnyina yasoose kwegeza mu mutoowe

Added 27th October 2017

Ssentebe w’e Kalungu Richard Kyabaggu yategeezezza abakungubazi abaabadde mu kuziika mukyala we Lillian Nansubuga 41, nga mutabani we gwe bateebereza okwenyigira mu ttemu lino bwe yeegeza mu kutta mutoowe.

 Abakungubazi mu kuziika Nansubuga ( mu katono).

Abakungubazi mu kuziika Nansubuga ( mu katono).

Wakati mu kasiriikiro, yagambye nti baamutumye okunona muganda we asoma S3, kyokka bwe baatuuse mu kkubo n’ayagala okumutta.

Kyabaggu yagambye nti , “Omwana oyo Emmannuel Walugembe twamulaga omukwano mungi ne tumukolera buli kimu nga kwe tutadde n’okumuwa ebbeetu okugenda mu ssomero ly’ayagala.

Bwe yamala S5 n’agaana okuddaayo okusoma kyokka n’akkiriza okugenda mu galagi eyige obwamakanika. Yali tannakaza n’ajeera okudda mu galagi n’asalawo okugenda mu kyalo ng’ekyaddiridde kutta nnyina”.

Yagambye nti okuva lwe baamuggalidde mu kkomera ne banne bwiino mungi gwe bafunye era banoonya ssimu y’omugenzi nga kiyinza okubatuusa ku basse kuba waliwo eyamukubira essimu ng’amutegeeza nga bwe baali bamulinze awaka.

Muganda we gwe yabadde anonye ku ssomero yagambye nti bwe baatuuse mu kkubo n’ayimiriza pikipiki wakati mu luguudo ng’emmotoka eneetera okubatuukako ng’ayagala ebatomere.

Abadde yawa ne nnyina etteeka nti tasiba luggi nga tannadda nga bw’aba takomyeewo wakati okusula nga luggule kyokka kyatayagala kwe kutuuka ku luggi nga lusibe n’alwa ku mulyango.

Abadde amwekengera kyokka nga talina kyakukola era yali yabategeeza nti bw’aba afudde bamuziika mu kabanja ke mwabadde yazimba ennyumba.

Abazadde ba Nansubuga Deogratias Nsubuga ne Madalena Wanyana n’abooluganda baagondedde ekiraamo kya muwala waabwe ne bamuziika mu kibanja kye e Kabaale - Lwabenge mu Kalungu.

Omusomesa w’ekigo ky’e Busagula, Robert Galiwango ne munne Francis Ssinnabulya baasabye Gavumenti eyongera okunyweza amateeka ku bantu abanywa enjaga.

“Ssikudaala ono tumuziise naye enkya tuzzaako nze oba ggwe kuba abanywa enjaga tuwangaala nabo olaba baginywera ne ku ttaka ly’e Klezia e Lusozi nga tewali abakuba ku mukono”, musomesa Galiwango bwe yagambye.

Fr. George William Kajubi yasabye buli muntu yeegayirire Katonda akkakkanye emitima gy’abantu ababi buli olukya aboongera okutta bannaabwe.

Ssentebe wa LCIII, David Sseggawa ne sipiika wa disitulikiti Abdu Bbaale Mayanja baagugumbudde abazadde abakuza baana baabwe n’ekyejo ne batakkiriza mateeka kubakangavvula.

“Mwe bazadde baffe mutukoze bubi kuba ebikolebwa abaana mubimanyi era bwe bakwatibwa musiiba ku poliisi nga mwegayirira nga Kyabaggu mugenda kumwetayirira ayimbule abaakwatiddwa”,Sseggawa bwe yakkaatirizza.

Meeya w’e Masaka Godfrey Kayemba Afaayo ne Ssentebe wa LCV Jude Mbabaali baalaze okutya nti abanywi b’enjaga n’abalalu abaagobwa mu bibuga batandise okudda mu byalo.

Omumyuka wa RDC e Kalungu Hajati Sarah Nanyanzi asabye abavubuka basaasire eggwanga nga beekomako ku kunywa enjaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...