
Besigye yeewuunyizza engeri gye baamuzunzizza okuva e Bushenyi ne bamutwala e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono ne bamuzzaayo e Bushenyi ate gye baamuggye ne bamuzza e Kasangati mu makaage!
Ku Lwokusatu akawungeezi, poliisi yakozesezza omukka ogubalagala okugumbulula ebbiina ly’abavubuka abaabadde bagiremesa okukwata Besigye ne Ingrid Turinawe e Kasangati.
Besigye ng’ali n’omubaka Patrick Amuriat beesibidde mu mmotoka okumala olunaku lulamba okuva oluvannyuma lw’omulamuzi Julius Borore Kyaka okubayimbula ku kakalu ka Poliisi.
Besigye yabadde ayagala kuyita mu kibuga agende mu makaage e Rwakabengo.
Besigye yabadde ne loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago, ababaka okwabadde Mubaraka Munyagwa ne Allan Ssewanyana abaatuuse ku ssaawa 5:00 nga kkooti amaze okwabuka.
Poliisi eyabadde eduumirwa Denis Namuwayo baamulagidde obutayita mu kibuga Rukungiri nga kiyinza okuvaako ebizibu era ne bamulagira adde e Kasangati.
Kino kyatutte kumpi olunaku lulamba, abavubuka ne batandika okukuhhaanira ku mmotoka nga bwe bayimba n’okusaakaanya.
Wano Poliisi we yatandikidde okubakubamu omukka ogubalagala ne badduka era boba boda zaabwe baazikimye luvannyuma.
Besigye baamuwalirizza okuva mu mmotoka ne be yabadde nabo ne babakunguzza okutuuka e Kasangati mu Wakiso.