TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tulina okukazana okubezaawo obwa kabaka-Katikkiro

Tulina okukazana okubezaawo obwa kabaka-Katikkiro

Added 1st November 2017

Tulina okukazana okubezaawo obwa kabaka-Katikkiro

 Katikkiro ng'annyonnyola ku nsonga Buganda

Katikkiro ng'annyonnyola ku nsonga Buganda

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asomoozezza abantu okukazana okuyitimula Buganda nga bali bumu n'ategeeza nti okutabulatabula okukolebwa abantu abamu mu ssaza ly’e Kooki kujja kuggwa kubanga kukolebwa abantu abeenoonyeza ebyabwe, abatasaanye kubaggya ku mulamwa. 
 
Bino Katikkiro Mayiga yabyogedde asisinkanye abantu okuva mu maggombolola agasangibwa mu masaza okuli Kooki, Buddu ne Busiro abaaleese oluwalo lwabwe olw’okutambuza emirimu gy’Obwakabaka e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri October 31, 2017 nga bonna wamu baleese ensimbi 9,700,000/-.
 
“ Ebibasomooza gyebiri naye tebyeraliikiriza neeyo ebifa e Kooki byonna mbimanyi naye bijja kuggwa kubanga ababatawanya bantu batono, balina ebyabwe byebanoonya naye ffe kyetuliko tukimanyi ate tutambula ekigere kimu naye bwetutandulula oluta tetudda mabega.

Mwe mwekuumire ku Kabaka ebirala temubyeraliikirira ate kino temwerabira nti nakibagamba nga October 31, 2017,” Mayiga bweyaggumizza abantu okuva mu ssaza ly’e Kooki abamutegezezza nti waliwo abantu abagootanya emirimu gya Kabaka mu kitundu kino.

 
Abatuuze okuva mu maggombolola okuli  Kyalulangira (550,000/-), Kagamba ( 740000/-), Mumyuka Lwanda (500,000/-) ne Byakabanda agakulembeddwamu Omukungu akwanaganya emirimu gya Kabaka e Kooki, Getrude Nakalanzi Ssebuggwawo basabye Katikkiro abasabire Kabaka asiime agende abalambuleko kubanga bamulinamu ennyonta.
 
Enkolagana wakati wa Mmengo n’abakulembeze b’ennono abamu e Kooki okuli Kamuswaga okulemesa abantu b’ekitundu kino okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka okuli omupiira gw’amasaza,ettofaali lwakuba abantu bino babijjemera nebagenda n’enteekateeka zino mu maaso ate nga kigambibwa bano bateemawo ekipande ekyali kitereddwawo okwawula Buddu ne Kooki.

 

 
Abavudde e Buddu nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Pokino Mwalimu Abdallah Kato, kwabaddeko ab’e Bukakata (1,050,000/-), Kirumba (1,500,000/-), Ndaggwe (520,000/-), Kibinge (3,228,500/-) ate eggombolola Mutuba etaano (V) Entebbe baleese (1,000,000/-) era Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki naabebaza olw’okuyimukiramu ku mirimu gy’Obwakabaka wamu n’okubakunga okwetaba mu kulonda abakulembeze ku byalo byaabwe.
 
Amaggombolola Kagamba ne Kibinge bebasinze okuleeta ensimbi era gawereddwa ekifananyi kya Kabaka nga bagenda kukiteeka mu ofiisi zaabwe. Omukolo gwetabiddwako Omubaka Deo Kiyingi (Bukomansimbi), Omukungu Ronald Kawaddwa- owa Majestic Brands, abaami b’amaggombolola n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...