TOP

Abajaasi ba Korea 200 bafiiriddemu mpuku

Added 1st November 2017

Abajaasi ba Korea 200 bafiiriddemu mpuku

NORTH Korea eguddemu ekyekango, abajaasi abasoba mu 200 bbomu bwe zitulise ne zibookya bonna. Entabwe yavudde ku ttaka eryabumbulukuse ne libuutikira abajaasi bano nga bali ne bbomu zaabwe.

Ettaka olwabumbulukuse, bbomu ne zibaluka omulundi gumu; omuliro n'erikka ne bikwata ekifo kyonna era bonna ne basaanawo. Enjega eno egudde mu kifo omuli ekkolero ly’ebyokulwanyisa ebya nukiriya ekiyitibwa Punggye-ri ekisangibwa mu nsozi z’e Mantapsan mu mayiro nga 50 okuva ku nsalo ya North Korea ne China.

Amawulire ag’okufa kw’abajaasi ab’eggye lya North Korea erya Korean People's Army (KPA) gasoose kufulumira ku TV Asahi ey’omu Japan n’oluvannyuma ne gasaasaana ng’omuliro ogw’oluyiira ku mikutu gy’amawulire mu South Korea ne Amerika.

TV Asahi etegeezezza nti, abajaasi nga 200 babadde batwala bbomu ennene nga bagiyisa mu mukwesese omunene ogwasimibwa wansi mu ttaka kyokka ettaka ne libabuutikira, kyokka mu kaweefube ow’okubataasa, abajaasi abalala abasoba mu 200 tebaluntonze. Omukutu gw’amawulire ogwa Yonhap ogw’omu South Korea gwategeezezza nti, bbomu eyabadde etambuzibwa abajaasi abaabadde bagitambuza baafudde bonna.

Ekifo Punggye-ri, kigambibwa nti North Korea we yaweeseza bbomu nnamuzisa eyagezesebwa nga September 3, 2017 n’ereeta Musisi munda mu North Korea n’amawanga ag’omuliraano; China, South Korea ne Russia.

Bbomu North Korea gye yatulisa ya kika kya Hydrogen bomb (H-bomb) nga y’amaanyi n’obulabe obutalojjeka ng’ekubisaamu emirundi ettaano bbomu nnamuzisa Amerika gye yakuba n’esaanyawo ekibuga kya Japan ekya Nagasaki nga August 9, 1945 ate emirundi esatu bbomu nnamusiza Amerika gye yakuba ekibuga Hiroshina nakyo ekya Japan nga August 6, 1945 nga bbomu zombi zaakutula Japan enkizi, Ssematalo owookubiri, (1939-45) n’akoma awo.

Omukungu wa gavumenti ya South Korea ategeezezza ab’ekitongole ky’amawulire ekya Yonhap nti akabenje omwafiidde abajaasi ba North Korea 200 kaavudde mu maanyi ga bbomu eya nukiriya eyagezesebwa mu September n’enafuya omukwesese gwe baabadde bakozesa.

Bbomu eya nukiriya yaleeta Musisi ow’amaanyi n’ereeta enjatika ez’amaanyi mu ttaka nga kino kye kyavuddeko empuku mwe baabadde bayisa bbomu eyo okunafuwa, ettaka ne ligwamu. Gavumenti ya North North Korea tennabaako ky’enyega ku kabenje kano kyokka kigambibwa nti, omukulembeze wa North Korea Kim Jong Un alagidde minisita ow’ebyokwerinda Gen. Pak Yong Sik okumuwa lipoota ku kufa kw’abajaasi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....