TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamwonoonedde ebintu lwa ku muteebereza kuba mulogo

Bamwonoonedde ebintu lwa ku muteebereza kuba mulogo

Added 1st November 2017

Bamwonoonedde ebintu lwa ku muteebereza kuba mulogo

 Ennyumba eyayonooneddwa

Ennyumba eyayonooneddwa

Aba tuuze b’e Kakuza okumpi ne Kaliisizo mu disitulikiti y’e Kyotera basaanyizzaawo olusuku n’okukoona ennyumba ya mutuuze munnaabwe gwe bateebereza okuba omulogo. Bagamba nti yaleeta ebyokoola ebisobya ku bawala n’okubatulugunya.

Musa Lubega gwe bayonoonedde ebintu ng’ennyumba ye baagikoonye n’okugikumako omuliro n’olusuku ne balusaawa.

Poliisi okuva e Kaliisizo eyabadde eduumirwa Yudaaya Mugoya yayitiddwa okutaasa embeera era abantu olwagirabye ne badduka. Waliwo abaasoose okukuma omuliro mu kkubo nga baagala okugiremesa okutuuka mu maka ga Lubega ge baabadde boonoona. Abaserikale ba poliisi baayambye okuzikkiza ennyumba abatuuze gye baabadde bakumyeko omuliro.

Akulira abasawo b’ekinnansi e Rakai ne Kyotera Nnaalongo Nansamba yanenyezza abatuuze olw’okwokya ebintu bya munnaabwe. Abatuuze abaabadde abanyiivu baagambye nti kino baakikoze oluvannyuma lw’okukizuula nga tewali kikoleddwa newankubadde ng’abantu baabwe babadde bafa n’abakazi okukwatibwa. Mugoya yagambye nti abantu bona abeenyigidde mu kwonoona ebintu bajja kubakwata bavunaanibwe.

Yalabudde abatuuze okukomaya okutwalira amateeka mu ngalo n’agamba nti bwe babaako n’omuntu gwe beemulugunyaako bategeeze poliisi ebayambe okusinga okwonoona ebintu. Lubega yadduse abantu abaabadde baagala okumutta nga tamanyiddwa gy’ali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu