TOP

Frank Gashumba y'ani?

Added 2nd November 2017

Frank Gashumba y'ani? Soma wano ku bimukwatako by'obadde tomanyi

 Gashumba

Gashumba

Yazaalibwa December 3, 1974 e Villa Maria mu Masaka.

Yatandika okusoma ku St. Francis Primary School e Masaka.

Be yasomako nabo bagamba nti yakozesanga linnya lya Frank Ssenyondo kyokka oluvannyuma yatandika okukozesa erya Kasumba we yava n’afuuka Gashumba.

Yagenda ku Agha Khan S.S e Masaka gye yasomera Siniya.

Mu 1996, yatikkirwa ku Nkumba Yunivasite Ddiguli y’ebyobusuubuzi (BBA).

Wakati wa 1996 ne 1998, yakolerako ekkanisa y’aba Momon eya Church Jesus Christ of the Latter Day Saints.

Mu 1997, yatandika okwekozesa n’atandika kampuni ez’enjawulo ezeegattira mu Mali Group of Companies. Mu zino mulimu Sarafina Ltd, Sarafina Safaris n’endala.

Oluvannyuma yatandika ekibiina ky’obwannakyewa ekya National Action for Awakening Uganda (SISIMUKA UGANDA).

Ku ntandikwa ya 2000, yali musaale nnyo mu kusondera omwana Aisha Nabukeera gwe baayokya kyokka abamu ne bamulumiriza nti zino ze yakozesa okugula emmotoka kika kya Mercedes Benz gye yali avuga ebiseera ebyo.

Yayawukana ne mukaziwe nga bazadde omwana Aisha era omwana oyo n’akula ne kitaawe.

Yakwatibwako poliisi ng’emuvunaana okweyita omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ensonga z’omunda n’ekigendererwa ky’okufera yinvesita obuwumbi bw’ensimbi.

Abadde ayogera nnyo ku leediyo ne ttivvi ebikolokota gavumenti era baamuwera ku ttivvi ezimu olw’okwogera ebikontana n’amateeka agatambulizibwako ebiweerezebwa ku mpewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...