
Abasibe nga bazzibwayo mu kkomera e Luzira.
Bano nga bakulembeddwaamu Ibrahim Kaweesa ng’ono yasooka n’akkirizza nga bwe yatta abakyala okuli Patricia Nansubuga n’abalala era n’alambuza abaserikale ebifo mwe yakolera ettemu lino yeekyusirizza mu kkooti n’ategeeza nga bwe yakakibwa poliisi okukkiriza okwenyigira mu butemu buno.
Yategeezezza kkooti nga bwe baasooka okukwatibwa ne batwalibwa e Nalufeenya nga batulugunyizibwa nnyo nga babakaka okukkiriza emisango gino era nga tebaalina kyakukola ne bakkiriza ebyali bibalagiddwa bataase obulamu.
Ono n’abalala olwasimbiddwa mu kaguli ka kkooti y’omulamuzi w’e Nabweru, Esther Rebecca Nasambu kwe kuwanika emikono era bangi baamuttottoledde okutulugunyizibwa kwe bayitamu okuva lwe baakwatibwa ne basaba kkooti eragire abatwala amakomera okubajjanjabisa.
Abeng'anda z’abakwate baawanjagidde kkooti okuyimbula abantu baabwe nga balumiriza nti baajwetekebwako emisango egyo olw’empalana z’oku kyalo.
Omulamuzi yabawadde amagezi okutwala okwemulugunya kwabwe eri ofiisi ya Ssaabawaabi wa Gavumenti okuddamu okwekenneenya ensonga ze beemulugunyaako.
Abavunaanibwa baasabye omulamuzi okunoonyereza ku baabakwata kuba balabika balina kye bamanyi ku byekuusa ku ttemu lino wabula omulamuzi bwe yababuuzizza okwasanguzza amannya gaabo be balumiriza ne bagaana okubaako kye boogera.
Bano baakwatibwa wakati wa May ne July 2017 ng’abakazi munaana be baali baakattibwa Kkooti yategeezezza abehhanda z’abakwate abaabadde bataddeyo okwemulugunya kwabwe nga bw’etalina kya kukola kuba abawaabi ba gavumenti bakyali mu keediimo n’alagira abasibe bazzibwe ku limanda e Luzira okutuusa nga November 21, 2017.