TOP

Ow'emyaka 13 asimattuse okusaddaakibwa abazigu

Added 3rd November 2017

OMWANA eyabiddwa e Masaka n'aleetebwa e Kampala abantu abagambibwa nti babadde ne kigendererwa ky’okumusaddaka attottodde ng’okuba omukomole bwe kyamuwonyezza.

 ervin  Kanyawula  eyasimattuse okusaddaakibwa

ervin Kanyawula eyasimattuse okusaddaakibwa

Kervin Kanyawula (13) nga muyizi  ku ssomero lya  Land College e Kalisizo ng'asoma S.1 ye yawanedde awatono okusaddaakibwa  abantu  b'ataasobodde  kwetetegera bulungi, oluvannyuma  lw'okumubba e Masaka Kaliisizo  n'aleetebwa e Kampala kyokka oluvannyuma lw'okumwekebejja ne basanga nga mukomole ne basaalawo okumusuula ku lumu ku nguudo z’omu Kampala abazirakisa kwe baamulonze ne bamuddusa mu ddwaliro e Mulago.

Kanyawula yategeezezza  nti baamubye  ku Lwakutaano lwa wiiki ewedde era abasajja abaamubbye baabadde bambadde essuuti enzirugavu   nga batambulira mu mmotoka  ekika kya Harrier nga nayo nzirugavu mu langi.

Yagambye  nti okumanya abasajja bano baabadde bagenda kumusaddaaka, baasoose kumuteekako kawero  ku nnyindo n'awunga   ne balyoka bamwambaza engoye endala oluvannyuma ze yazudde nga si ze yalimu olunaku lwe baamukwata.

Akulira  poliisi  y'e Kaliisizo, ASP Peace Nansaba  yalabudde abazadde ku bulabe obuli mu kulagajjalira abaana  baabwe  n'abakuutira okuba abeegendereza.

Yalabudde n'abaana bulijjo okwekengera abantu be batamanyi sinakindi okukuba enduula singa bagezaako okubasendasenda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....