TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bobi Wine bamutaddeko akazito ku luyimba lwe yafulumizza

Bobi Wine bamutaddeko akazito ku luyimba lwe yafulumizza

Added 4th November 2017

GAVUMENTI etadde akazito ku luyimba lwa Bobi Wine (Robert Kyagulanyi) lwe yafulumizza nga lwogera ku mbeera y’ebyobufuzi eriwo mu ggwanga kasookedde kaweefube w’okuwakanya okukyusa mu Konsitityusoni etandikibwa.

 Mu vidiyo ya Bobi Wine alabika ng’ayambadde bw’ati.

Mu vidiyo ya Bobi Wine alabika ng’ayambadde bw’ati.

Oluyimba luno lwe yatuumye FREEDOM yalufulumizza ku ntandikwa ya wiiki eno era olwamaze okulukolera olutambi (vidiyo), n’alinnya ennyonyi n’agenda e South Afrika okuyimba mu bivvulu bina ebitegekeddwaayo.

Nga tannafuluma ggwanga, yalese abawagizi be batandise okulukuba n’okulusaasaanya ku mikutu gya yintaneeti, kyokka egimu ku mikutu gya TV ne leediyo gibadde gitandise okulukuba, abakungu okuva mu bitongole bya Gavumenti ne baluyimiriza nti bakyalwetegereza.

Emu ku ttivvi eyakedde okulukuba eggulo, yassiddwaako akazito obutaddamu kulukuba era ensonda mu poliisi zaategeezezza nti ne Bobi Wine bamulinze akomewo okuva e South Afrika bamuyite ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli bamukunye ku bigambo ebirumba Pulezidenti Museveni ne Gavumenti ya NRM bye yataddemu.

Eggulo ssentebe w’akakiiko akafuga ebiweerezebwa ku mpewo (UCC), Godfrey Mutabaazi yagambye nti bakyetegereza era bwe banaabifuna obulungi bagenda kuvaayo balangirire mu butongole kyokka n’akubiriza abayimbi okwewala okuyimba ennyimba ezikuma omuliro mu bantu.

Ebimu ku bikulu by’atadde mu luyimba luno, bye bifaananyi ebiraga engeri ebitongole bya Gavumenti ebikwasisa amateeka naddala poliisi gye bizze bitulugunya n’okukozesa amaanyi ku bakulembeze ne bannansi mu ngeri etesaana.

Ekimu ku bitundu kiraga loodi meeya Erias Lukwago ng’akwatiddwa bubi ebitundu by’ekyama ate n’abamu ku Bannakampala nga bakubwa n’okutikkibwa ku kabangali za poliisi mu ngeri etyoboola eddembe lyabwe.

Poliisi ezze eyimiriza omuyimbi Bobi Wine okuyimba mu bivvulu eby’enjawulo ng’egamba nti ayingizaamu ebyobufuzi era gye buvuddeko baamuyise e Kibuli ne bamukunya ku bye yayogerera mu kivvulu kye e Busaabala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu