TOP

Omugagga w'e Ntinda bamukutte nga Nseenene

Added 5th November 2017

WAABADDEWO akanyoolagano, nga bawannyondo ba kkooti bafulumya omugagga w’e Ntinda okuva mu maka ge yazimba ku ttaka eririko enkaayana.

 Bawannyondo nga bawalaawala Fred Kiraga omugagga w’e Ntinda gwe baagobye mu nnyumba gye yazimba ku ttaka eritali lirye.

Bawannyondo nga bawalaawala Fred Kiraga omugagga w’e Ntinda gwe baagobye mu nnyumba gye yazimba ku ttaka eritali lirye.

Enkaayana zino ziwulirizibwa kkooti ekola ku nsonga z’ettaka.

Ziri wakati wa George Lumala, Fred Kiraga n’abalala abaludde nga bagugulana ne Ronald Kwesiga.

Kkooti yakakasizza nti Kwesiga ye nnannyini ttaka omutuufu era n’esindika bawannyondo baayo okufulumya Lumala n’abapangisa be.

Ku ssaawa 5:00 ez’oku makya, bawannyondo bano abaakulembeddwaamu Ismail Magumba owa T/A Capital Debt Agency mu Kampala baatuukiridde poliisi ya Kira Road ne bagisaba okubaawo nga bateeka ekiragiro kya kkooti mu nkola.

Poliisi yakulembeddwaamu agikulira, ASP peace Nansaba. Ono yatuukiridde ssentebe wa Buye Kigoowa Kinnawattaka Zooni, Godfrey Mukwaya. Mukwaya yalagidde abakolera ku ttaka lino okuli abaamaduuka, abookya ebyuma, abapangisa n’abalala okukuhhaana n’abasomera ekiwandiiko ekyaweerezeddwa omulamuzi wa kkooti enkulu Christine Nantege.

Oluvannyuma yayise aba famire ya Lumala ne Kiraga n’abasomera ekiwandiiko kino kyokka ne bagaana okuva ku ttaka. Bano baagambye nti ekiwandiiko kijingirire kuba wadde omusango gwabasingisibwa naye omulamuzi y’omu yabakkiriza okwongerayo okujulira kwabwe.

Kino kyawalirizza Nansaba okulagira bawannyondo okukola omulimu gwabwe, olwo ettaka lyonna ne balikubako ekibaati. Oluvannyuma baalagidde abapangisa okusengula ebintu byabwe.

Baayolekedde amaka ga Lumala ne bafulumya ebintu bye ne babisuula wabweru. Waabaddewo akannyoolagano oluvannyuma lwa Lumala ne Kiraga okulagira bawannyondo okwamuka amaka gaabwe era ne babafubutula.

Baggyiddeyo bawannyondo emiggo, nabo ne baggyayo amajambiya ekyatiisizza poliisi n’eragaira Kiraga eyabadde atabuse okukira ennumba ateekebwe ku mpingu.

Omulamuzi Christine Nantege kigambibwa nti yalagidde bawannyondo okusengula abantu ku ttaka eriri ku Plot 1485 ne Block 216.

Ssentebe Mukwaya yagambye nti ettaka lino abadde tamanyi nti lya Ronald Kwesiga ng’amanyi lya Dr. George Washington oyuku ali emitala w’amayanja.

Abapangisa ku nnyumba za Lumala baategeezezza nti tabategeezanga ku kizibu kino ne bagamba nti abasinga abadde yaakabaggyako ssente z’omwezi omupya era tebalina waakutandikira.

Ye Kiraga bawannyondo baamututte butereevu mu kkooti e Nakawa avunaanibwe kuba ye, Lumala ne banne kkooti ebeetaaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...