TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebibinja by'ababbi e Kawempe biraze obubonero obubaawula ku bannaabwe

Ebibinja by'ababbi e Kawempe biraze obubonero obubaawula ku bannaabwe

Added 6th November 2017

Ebibinja by'ababbi e Kawempe biraze obubonero obubaawula ku bannaabwe

 Omu ku batogomya Kawempe ng'ali ku Poliisi

Omu ku batogomya Kawempe ng'ali ku Poliisi

EKIBINJA ky’ababbi ab’omutaawana mu kawempe poliisi ky'egamba nti yakisanyaawo,abakirimu bakyusizza akabonero  akabaawula ku bamenyi b’amateeka abalala ekitadde abatuuze ku bunkenke.

Kawempe y’emu ku munisipaali ezikola Kampala ezisingamu abamenyi b’amateeka ababuli kika okuli abasobya ku bakazi, abakuba obutayimbwa abakwata obubaddiya , abasuula ebibaasa , abanyakula ensawo n’amassimu mu bulipagaano bw’ekibudduka ng’era bali mu bibinja ebyenjawulo okuli ekya Kifeesi , Kasolo , Towa Balabala , Baana ba meeya , ne Kijambiya.

Abavubuka abali mu bibinja bino balina obubonero obwenjawulo okuli okusala enviiri ezitali za bulijjo, okwekuba Tatu ku mibiri ng’era kibadde kizibu poliisi okumanya amakulu g’obubonero buno okutuusa wiiki ewedde abasirikale bwe baakutte omu ku bavubuka ng’alina akabonero k’ekinnyonyi n’ategeeza nti  ka kibinja kya kasolo ekibinja kino poliisi egamba yakisanyawo abatuuze kye bawakanya nti kikyaliwo era kye kisanze obulabe mu kawempe ng’abaana abakirimu bava ku myaka 12 okudda wagulu .

Ekibinja kya  Kasolo kyatandikira  Bwaise mu kusooka kyali kikozesa akabonero ke mpologoma nga bakekubanga   Tatu mu kifuba nga baakakozesanga okwetegeera nga basisinkanye mu bifo gye baba bagenze okubbamu wabula poliisi bwe yakwata abamu ku bakulira ekibinja kino abavubuka abaasigalawo kati be batigomya kawempe

Abatwala poliisi z’omu Kawempe bazze bavaayo nga bagamba nti ekibinja kya Kasolo kyasanyizibwawo kyokka abatuuze bagamba nti abasirikale balimba baagala kulaga bakama baabwe nti bakola naye ekibinja kikyaliwo era kyakyusizza n’akabonero kati beekuba akabonero k’ekinyonyi kya Kamunye ssaako n’okwesiba ekikomo ku kigere .



More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...